Politics

Ababaka ba palamenti basindikiddwa mu luwummula banonyereze ku nkola eya Parish Development Model

Abakiise mu lukiiko lw’eggwanga olukulu basindikiddwa mu luwummula lwa sabiiti bbiri banoonyereze ku nkola eyokwekulaakulanya ey’emiruka jiyite Parish Development Model.

Mukuggulawo olutuula lwa leero omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa asomedde baakubiriza ebbaluwa mukamaawe gyafulumizza nga asindika ababaka mu bitundu byaabwe okunoonyereza ku nkola eya Parish Development Model mu luwummula lwebagenzeemu.

Okusinziira ku biragiro bya sipiika Anita Among ababaka bateekeddwa okwekebejja ensonga ttaano nga banoonyereza ku nsonga zino, omuli okumanya omuwendo gw’ensimbi ogwawerezebwa ku miruka, ensimbi byezikoze awamu n’okulaba oba zigwaana n’omulimu ogwakolebwa gwonna, ababaka era balagiddwa okulaba oba amateeka gagobererwa agali ku nkola eno nebintu ebirala .

Okunoonyereza kutandika enkya nga 3 era kwakumala ebbanga lya sabiiti bbiri nga ly’ebbanga ly’ebagenda okumala mu luwummula. Wabula basabye minisitule ey’ebyensimbi okuwa ababaka obubaka bwonna obwetaagisibwa ku mulimu guno.

Ababaka baakwekolamu obubondo 18 okusinziira ku bitundu gyebava nga bino byebitundu 18 okwetoloola eggwanga bakole alipoota egya okwanjizibwa mu palamenti.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *