Politics

Ababaka ba palamenti okuva mukibiina kya FDC bambalidde mukama wabwe Amuriat Oboi.

Ababaka ba palamenti okuva mukibiina kya Forum for Democratic Change balidde mu tamma nebambalira mukama wabwe Amuriat Oboi olwekwekobaana ne Hon. Nandala Mafabi lwakutegeka kulonda okumenya amateka.

Okusinzira kubabaka bano bategezeza nga bwe bamaze da okukunga abantu babwe obutetaba mu kulonda okutakyabuzayo na naku ziwera kubanga enkola eyasidwawo okulonda si nambulukufu.

Omubaka wa Buhwejju Francis Mwijukye agamba nti enkola yokutegeka akalulu akamenya amateka batuuse nokupangisa abantu okugaana party chairman Waswa Birigwa abade agenda okwogerako eri bannamawulire nga ayimiriza okulonda okutandika enkya wabula ne bamugalira ekintu ekitali kituufu.

Okusinzira ku bamu kubabaka bano bagamba nti bakudamu okulawuna ebitundu bya Uganda ebyenjawulo nga betondera abantu be yasabanga obululu bwa president Amuriat Patrick Oboi nga President we ggwanga.

Ababaka era bakombye ku erima nti sibakukiriza bantubabwe kwetaba mu kulonda.

Bano bagamba nti okusinziira ku mubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Ngaanda agamba nti sibakwetaba mu kulonda.

Bana FDC bagamba nti sibakwetaba mu kulwana nga banabwe abalala byebakoze olunaku olwalero nga Ssemujju bwayongera okunyonyola.

Bano era basiza kimu nga nkuyege nti abantu bebakiikirira sibakwetaba mukulonda lwa kibina kulemelelwa kutegeka kulonda okulungamu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *