Politics

PALAMENTI EGADDEWO OKUTUUSA NGA GAVUMENTI EVUDDEYO NETANGAAZA KUKULONDA KWA LC.

20/07/2023

Speaker wa palamenti Annet Anitah Among awaliriziddwa okwongezaayo olutuula lwa palamenti akawungeezi ka leero okumala ebbanga eritali ggere oluvannyuma lwa sabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka okukinaggukira ababaka ba palamenti nti oba tebaagala nteekateeka ya gavumenti eyokwongezaayo ekisanja ky’obukulembeze bw’okubyalo bagende mu kkooti.

oluvannyuma lwekisanja kyaba LC okuggwako ng’enaku zo mwezi 10 omwezi guno, palamenti yalagira Ssabawolereza wa gavumenti aveeyo ne alipoota ennyonnyola ku nsonga eno olwaleero.

Wabula Ssabawolerezza wa gavumenti bwasituse okwogera nagamba nti gavumenti etunuulidde ekyokwongezaayo ekisanja kyabano ekitanudde ababaka nga bagamba nti kino kimenya mateeka nabawa amagezi bakube gavumenti mu mbuga.

Speaker wano awaliriziddwa okuggalawo olutuula paka ebbanga eritali ggere nga agamba nti ensonga eno nkulu nnyo era okutuusa nga gavumenti eyogedde ekiddako kulonda kwa ba LC palamenti tekigigwanidde kubaako kyekola.

Minisita we nsonga za Ssemateeka ne kitongole ekiramuzi ku ludda oluwabula nga era ye mubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende agambye nti okwongezaayo ekisanja kyabano kimenya mateeka nga agamba nti ne misango mu kooti gyakwesiba olwabantu abeeyimirira abasibe okubulwa abawa emikono.

Ababaka abalala okuli ow’ebizinga bye Kalangala mu Ssaza lye Bujumba Mukasa Julius Opondo anyonyodde okusoomozebwa okwatandise edda olw’ebitundu obutaba na ba Ssentebe okuli naabo abawangaalira ku bizinga nga kitwaliddemu na bayizi abali mu kiseera ekyegatta ku matendekero aga waggulu.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *