Akakiiko ka COSASE kakunyizza abakulu mu kitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’ebintu UNBS.
Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti COSASE kakunyizza abakulu mu kitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gwebintu mu ggwanga UNBS lwakulemererwa kukangavvula bakozi ba kitongole kino ababba ssente ezisoba obuwumbi mwenda n’obukadde 200.
alipoota ya sababalirizi webitabo bya gavumenti eyomwaka gweby’ensimbi 2021-2022 yalaga nti abakozi mu kitongole kino okuli Emmanuel Muwanguzi, Emmanuel Kateti, Bosco Luyima, Raymond Odyekoi ne Rogers Jjuuko, babba sente ezisoba mu buwumbi 9 kyokka newatabaawo kibakolebwako.
ababaka ku kakiiko kano batadde ku nninga senkulu wekitongole kya UNBS David Ebiru annyonnyole lwaki abakozi bano tebaagobwa bwekyazuulibwa nti babba ssente nagamba nti yatya okutwalibwa mu mbuga zamateeka olwokugoba abakozi bano mu bumenyi bwamateeka
ono wabula agambye nti bwebaakitegeera bagezaako okuzibikira emiwatwa bano gyebaakozesa okubba ssente omwali nokubakyusa okubazza mu bitongole ebirala.
Bya Namagembe Joweria