Ababaka mu Kampala bawadde gavumenti wiiki bbiri zoka nga bakoze enguudo n’emyaala
22nd September 2023.
Ababaka ba palamenti abava mu bendobendo lya Kampala nemirirwano bawadde gavumenti nsale nsale ya sabiiti bbiri zokkka okukola ku nguudo n’emyala ebiri mumbeera embi ebifuuse akattiro mu kampala ngakino singa kinabalema bakwesuulamu julume babeeko kyebakola.
Ababaka bano nga bakulembeddwamu Minisita w’ensonga za kampala kuludda oluwabula gavumenti ngera ye mubaka wa Lubaga North Abubaker Kawalya, bagamba nti Palamenti ekoze ogwayo okuyisanga ensimbi buli mwaka okukola enguudo za Kampala wabula ekisinga okubennyamizza kwekubanga tebalabawo kikolebwa.
Kati ono agamba singa gavumenti tebaako kyekola, mubbanga lya ssabiiti bbiri bakuvaayo balage obutali bumativu.
Bo ababaka ba palamenti abalala okuli omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana n’omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko bagamba gavumenti ezenga ebasuubiza nga bwefunye ensimbi okukola ku nguudo zino, kyokka kino kikoma mubigambo ate nga bannayuganda beyongera kufiira mububenje obwenjawulo obuva kumyala nebinya ebisusse mu nguudo ngakati kino tebagenda kukigumikiriza.
Yye omubaka wa Nakawa East Eng. Ronald Balimwezo agamba abantu abazimbye mu ntobazi nabazibikidde emyaala bebaviriddeko ekibuga Kampala okudobonkana nga nekisinga okwennyamiza abasinga banene okuva mu gavumenti ngera singa tebamuka ntobazi bakusalawo ekyokubakolera.
Bya Namagembe Joweria