Politics

Abakungu 71 gavumenti beyasindise mu America, bona baaki? Ababaka batabuse.

22nd September 2023.

Oludda oluwabula gavumenti mu palamenti luvumiridde ensimbi empitirivu ezasaasanyiziddwa kubakungu ba gavumenti abawerera ddala 71 abaagenze mu lukungaana lw’omukago gw’amawanga amagatte olw’omulundi ogw’ensanvu mu omunaana oluyindira mu ggwanga erya United States of America (USA), kyebagamba nti kino kikolwa kyakwonoona nsimbi yamuwi wamusolo.

Bano ngabakulembeddwamu minisita w’ensonga z’ebweru kuludda oluwabula gavumenti ngera yemubaka wa Kyadondo East mu palamenti Muwadda Nkunyinji mulukungaana lwabamawulire lwatuuzizza ku palamenti olunaku lwa leero, alazze okunyolwa engeri gavumenti gyeyasazeewo okutwaala enamba ennene bwetyo nga wakyariyo bannayuganda abasoba mu 1000 abakyakonkomaridde munsi zebuwarabu abetaaga okukomezebwawo wano kubutaka, n’ebyobulamu ebikaabya namaziga.

Muwada era agamba minisitule yensonga zebweru teyalumiriddwa bannayuganda ngakati nabamu kubakungu ba gavumenti baatuuse nokutwala baganzi baabwe , abenganda ssaako abemikwano ngabano bonna bakusasanyizibwako ensimbi yomuwi womusolo kunsimbi eziri mu kawumbi.

Muwada agamba waliwo ensimbi Palamenti zeyawa abakozi ba Uganda abali mu embassy ye New York ngabebaalina okukiikirira Uganda mulukungaana luno ng’era tewabaddewo bwetaavu bwonna butuusa gavumenti kusindika kibinja kirala kwonoona nsimbi yamuwi wamusolo

Muwada mungeri yeemu agamba nga palamenti ekomawo ssabiitii ejja wakuteeka ensonga eno mu Palamenti eyawamu bateeke minisitule y’ensonga zomunda muggwanga kunninga enyonyole ensimbi zino weyazijje kuba Palamenti teyisangako nsimbi zakutambuza bakungu bano bonna.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *