Ababaka mu palamenti basattira, ababatiisa okubatta beyongedde
Ensonga y’okutiisatiisa okutta abakiise mu lukiiko lw’eggwanga olukulu eyanjuddwa mu palamenti era wano abadde akubirizza palamenti omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa nabaako byalambika ku kiteekedwa okukolebwa.
Sabiiti eyise abakiise abatali bamu mu lukiiko lw’eggwanga olukulu baafuna ebbaluwa mu bubookisi bwabwe obwa palamenti ku mayengo kiyite (email) nga ebbaluwa zino buli muntu eyajiweebwa emulaalika okusasula obukadde kkumi nga babuweereza abantu abaweerezza ebbaluwa zino oba ssi kyo balina amasasi gaabwe asatu abalala ana.
Mu bbaluwa zino bano balaga nga abakiise mu lukiiko lw’eggwanga olukulu bwebabalekeredde nga ensonga zaabwe tebazikozeeko era nga waliwo ekibiina ekyeyita Associationof Tired Officers In Uniform Uganda (ATOU) mbu mwebayitidde.
Mu lutuula lwaleero omu kubabaka abafunye ku bbaluwa eno nga ye mubaka Sarah Opendi ayanjuliridde palamenti ebikwata ku bbaluwa eno era nabalaga ebijirimu .
Bano era baamukakasizza nti baateendekebwa mu bintu ebyenjawulo omuli n’okutta , okuwonya nebirala. Ono era baamusuubizza okuttibwa era asomye n’obubaka obwamuwerezeddwa abantu abalala nga bamusuubizza okuttibwa.
Opendi mu kubaanukula ategeezezza nga bwatali muntu wabulijjo era nti nabo baakufa nga Sarah Opendi omuntu omu tasobola kwongera kumusaala gwaabwe era nti nebwebanaamutta abantu amaloboozi amalala agoogera nga yye ganaaba tegattidwa era nago gajja kuvaayo .
Omumyuuka womukubiriza wolukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa naye ayanjuddde nga bwewaliwo abakiise abatiisibwatiisibwa abamu ku bakungu beebibiina ebikulembera ebyemizannyo nga bano babalaalika okutta ku bigere kukunoonyereza kwebaliko ku nzirukanya eyebyemizannyo mu ggwanga
Ono era yennyamidde olwokuba nga abantu bakyakozesa amassimu gatali mawandiise.
Minisita ow’ebyokwerinda Jim muhwezi agumizza ababaka nga bwebali mukunoonya bantu abo era nti tebasaanye kuba beraliikirivu era nagumya n’eggwanga nga ebyokwerinda mu nnyaffe Uganda bwebiri ggulugulu
Omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Thomas Tayebwa alagidde ababaka okukozesa yafeesi zebalina omuli eyakulira eby’okwerinda ku palamenti awamu n’ekulira okunoonyereza.
Olunnaku olweggulo omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga naye yagumizza ababaka nga ensonga eno bwebatandise okujikolako era nalaga nga n’ebyokwerinda ku palamenti bwebafulumizaako ebiragiro ebiggya.
Bya Namagembe Joweria