Local

Omusirikale omulala yekubye amasasi agamuttidewo

Kitalo!! Omusirikale wa Poliisi Alex Kitiyo ow’emyaka 47 yekubye amasasi agamutiddewo ng’obudde bukya.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala, APS Racheal Kawala, omugenzi abadde akolera ku poliisi ye Makokota mu disitulikiti ye Kassanda.

Kigambibwa ono yazuukuse mu kiro n’abaka emmundu naatandika okusasira amasasi mu nnyumba y’atwala poliisi eno, John Kakooza wabula nga talina ky’ayogera oluvannyuma nadda mu nnyumba ye naye neyeekuba amasasi agaamutiddewo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *