Politics

Ababaka mu palamenti baweze okugyamu minister ow’ebyobulamu Ruth Aceng obwesige

Ababaka ba palamenti baweze okuleeta ekiteeso mu palamenti ekigyamu Minister owe by’obulamu Hon Jane Ruth Aceng obwesige olw’okulemererwa okutuusa eddagala malwaliro ga gavumenti.

Bano nga bakulembedwamu omubaka wa mawogola Hon. Namugga Gorreth bagamba nti singa kizuuka nti Minister we’by’obulamu talina nsobi olwo ate obwanga baakubwolekeza minister avunanyizibwa ku by’ensimbi bamugyemu obwesige olwokugayaalirira obulamu bwa bannayuganda.

Omubaka Gilbert Olanya Kilak south ne Faith Nakut omubaka omukyala owe’Napak bagamba ky’ekiseera okusitukiramu okutaasa obulamu bwa bantu babwe abazze bafiira malwaliro olw’okubulamu eddagala nga basaanidde okukwata ku nkoona abo bakanaaluzaala.

Bino byonna bidiridde okwawukana mu bigambo okwalabikidde mu palamenti olunaku olweggulo minister we by’obulamu Jane Ruth Aceng bweyabadde ayanjulira palament alipoota ku kireseewo ebbula ly’eddagala malwaliro ga gavumenti omudumu bweyagutunuulizza ministry y’ebyensimbi kyokka byonna minisita owaguno na guli mu ministry ye byensimbi Henry Musasizi nabisambajja nti ssi bituufu bweyategezezza nga bwebasobodde okufulumya ensimbi eziri mu buwumbi 380 ekyawalilizza amyuuka Sipiika Thomas Tayebwa ensonga okuziyingizaamu ssaabaminisita.

Kati ekirindiriddwa bye’binaava mu nsisinkano Ssabaminisita Robinah Nabbanja jaayise olwaleero ku nsonga ye bbula lye ddagala wakati wa Minisita we by’obulamu Jane Ruth Aceng ne Ministry ye by’ensimbi .

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *