Politics

Palamenti eyise minisitule y’ebyensimbi bannyonyole kuby’abasomesa abamaze emyezi esatu nga tebasasulwa

Palamenti eyise bunambiro minisitule y’ebyensimbi okulabikako eri Palamenti enyonyole kunsonga yabasomesa ba secondary abamaze emyezi egisukka mw’esatu ngatebasasulwa ngakati bateekateeka kwekalakaasa .

Kino kidiridde omubaka wa palament akiikirira abantu be’Koboko North Musa Noah okuleeta okwemulugunya eri Palamenti nga abasomesa mu district ye Koboko bwebateekateeka okwekalakaasa olw’obutasasulwa newankubadde nga minisitule y’ebyensimbi gyebuvuddeko yategeeza Palamenti ng’ensimbi z’okusasula abasomesa bwezafuluma.

Wano mukwanukula minister omubeezi owa guno naguli mu ministry y’ebyensimbi Henry Musasizi agambye nti ekizibu kino kyayanjulwa eri minisitule era nebakaanya koota y’omulundi guno etekebwe mukusasula abakozi ba gavumenti ngakati wakuddayo yekkaanye ekitatambula bulungi olwo enkya ajje ne alipoota enambulukufu.

Ebigambo bya minister bilabise nga tebisanyusizza mumumyuuka w’omukubiriza wolukiiko lw’egwanga Thomas Tayebwa kuba ategeezezza Palamenti nga Minisita y’omu eyamusaba okugenda okukola kunsonga eno era bwatyo namusaba ajje annyonyole Palamenti ngemberenge tenagaga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *