Abakiise mu lukiiko lweggwanga olukulu Palamenti basabye okubategekerayo emisomo Ku nneyisa yaabwe.
Abakiise mu lukiiko lweggwanga olukulu Palamenti basabye okubategekerayo emisomo Ku nneyisa yaabwe awamu namateeka agabafuga nga bakiikirira abantu baabwe.
Abakiise bano okusaba Kuno bakukoze oluvanyuma lw’omumyuuka w’omukubiriza w’olukiiko lweggwanga olukulu Thomas Tayebwa okwanja enongosereza mu mateeka agafuga ababaka bano nga banja ensonga zaabwe. Tayebwa nga aggulawo olutuula lwa leero ategeezezza nti yebuuzizza ku mukamaawe kwekyo ekyabaddewo olunnaku olwegguo era kwekujja nenambika eno nga ababaka bonna abateekeddwa okujigoberera omuli obutaleeta byabufuzi nga oli ayanjula ensonga .
Ono era ajukiza nekunambika omubaka jabeera alina oba jayagala okwanja nga etambula nebyo ebiba bigenda mu maaso akaseera ako , wabula abagumizza nga bwebakimanyi nti mulimu abakiise abakyaali abapya nga betaaga okunyigibwa Ku liiso .
abamu ku babaka balaze okutya Ku nambika eno nebalaga nga bwebagenda okujibwaako eddembe lyaabwe eryokwanja kyebaagala .
mu buufu bwe bumu abalala basabye bategekebweeyo emisomo basobole okusomesebwa Ku bintu ebitali bimu omuli nneneeyisa mu bantu nga abakulembeze .
wabula Tayebwa abagumizza nga ensonga zonna bwezijja okukwatibwa mu ngeri enambulukufu .
Ssentebe wakakiiko akakwasissa ababaka amateeka Abdul Katuntu abasabye okugoberera ebiragiro ebibasomeddwa era nabagaayizaamu Ku bumu kubuwayiro bwebateekeddwa okusaako ennyo essira .
Ensonga yomubaka Francis Zaake eyabaddewo olunnaku olweggulo okugaana okuwuliriza nokussa mu nkola ebiragiro byomukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Thomas Tayebwa ku nsonga ya bantu abakwatibwa omuli okusooka okwevumba akafuno naye era nga yawalirizza olutuula olweggulo okuyimirira okumala akaseera nga omubaka Zaake agaanye okumuwuliriza kyekiriddeko enambika eno okufulumizibwa.
Bya Namagembe Joweria