Food & Health

Abalwadde b’emitwe beyongedde obungi, e’Butabika ebitanda tebikyamala.

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ensaasaanya y’ensimbi y’omuwi w’omusolo mu bitongole bya gavumenti kawuniikiridde oluvannyuma lwa nankulu w’eddwaliro ly’eButabika okubategeeza nti waliwo obwetaavu bw’ebitanda oluvanyuma lw’omuwendo gw’abantu abafuna obuzibu ku mitwe okulinnya buli olukya
Dr. Juliet Nakku mu nsisinkano gy’abaddemu n’akakiiko kano akakubiriziddwa omumyuuka waako omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basalirirwa okubaako byayanukula ku alipoota eyabakolebwako ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti agambye nti, eddwaliro lirina ebitanda 550 nga kati abalwadde abalala 1000 tebalina webebaka.

Abalwadde bano okweyongera, Nakku akitadde ku kirwadde kya COVID-19 ekyalumba eggwanga mu mwaka gwa 2020 ky’agamba nti kyakosa bangi nebakomekkereza nga batwaliddwayo

Okukendeeza ku mujjuzo guno, asabye gavumenti ebongeze ku ssente, amalwaliro agajanjaba abantu bano gasobole okuteekebwa mu bitundu eby’enjawulo kisobozese abalwadde okufuna obujanjabi mu budde.

Agamba nawakubadde enkola eno baagitandikako dda mu malwaliro agali ku mutendera gwa Heath centre III ne IV, ekyetaaga okwongerwamu amaanyi

Alaze nti mu mwaka gw’embalirira gw’ebyensimbi 2021/2022 baali baasaba obuwumbi 4 n’obukadde 70 ezinaaliisa abalwadde 9350 be baali basuubira kyokka ku muwendo ogwo agamba kyennyamiza nti gavumenti yabawaako obuwumbi 2 bwokka bwagamba nti bwali bwa kutetenkanya nnyo okusobozesa buli mulwadde okufuna eky’okulya.

Nakku agambye nti singa gavumenti teyongera maanyi mu kulwanyisa ekizibu ky’abantu abafuna obuzibu ku mitwe okuyita mu kufuna abakugu abababudaabudaa mu buli kitundu , obulwadde buno bwakweyongera mu ggwanga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *