Ab’amasundiro g’amafuta balaze obwennyamivu eri palamenti.
Kampuni z’amafuta zisitudde olutalo oluvanyuma lwa minisita w’amasanyalaze n’obugagga obw’ensibo Ruth Nankabirwa okulangirira nti ekitongole kya Uganda National Oil Companies kyasse omukaggo ne kampuni ya VITOL okusuubuzanga amasundiro g’amafuta mu ggwanga lyonna amafuta.
Zitegeezezza nti kino si kya bwenkanya eky’okubasibira ebweru naddala nga bo abalina amasundiro g’amafuta ate nga tebawulirwangako mu mivuyo gyonna, bategeezezza nti ku nsonga eno ne teeka teryetaagisa wabula baweebwe kontulakiti batandike omulimu.
Byategeezeddwa Dr. Rodgers Mugambwa Kananura omuwabuzi w’eby’ensimbi mu kampuni ya Maersk Line Ltd ezze esuubuzza amafuta kati emyaka 19 mu nsi yonna okuli ne South Sudan, Zimbabwe n’ endala.
Bwe baabadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola ensonga z’obutonde, yagambye nti kampuni nga ezaabwe ze zisaanye okuweebwa omukisa kubanga ebintu bya bwe birambulukufu tebirimu bwa kayungirizi.
Yannyonnyodde akakiiko nti nga kampuni tebali mu kulwanyisa VITOL wabula kye baagala kwe kukolagana ne UNOC babatuuse butereeve ku masundiro gaabwe e’Denmark gye basima amafuta bageesuubulire ku beeyi ya wansi munnayuganda alina ekidduka asobole okugafunira ku 3900/= zokka.
Yagaseeko nti, nga omukisa gubaweereddwa, baakuwa UNOC amafuta kunkola ya kibanja mpola nga bagyigaleetera wano ne basasulwa oluvanyuma era nga gaakuterekebwa nga ku Mahathi Infra Uganda Limited ne Jinja.
Kyokka omubaka Aisha Kabanda( Mukazi/ Butambala) bwe yamubuuzizza ebbeeyi y’amafuta mu nsi ze yamenye nga bweyimiridde, kino kyamulemye okuddamu wabula n’abagumya nti newankubadde teri wansi nga bwe kisuubirwa naye ate teyenkana n’aya wano.
Mu kwogerako n’omubaka Charles Tebandeke(Baale County) yategeezezza nti kampuni ya Maersk Line nayo agyiraba nga kayungirizi, abagenderera okuyunga UNOC ku kampuni ezirina amafuta w’abweru w’eggwa n’ekigendererwa eky’okufuna webaliira.
“ Eggwanga ddwadde liriri mu bwetaavu bwa mafuta naye teririna busobozi, kyokka ne bakayungirizi abavuddeyo okugyiyamba nabo balwadde, mulimu omuyi ddala n’atannabeera muyi” Tebandeke bwe yategeezezza.
Bya Namagembe Joweria