Politics

Abasoba mu 900 batikiddwa ku Namasuba College

Minisita Hajjat Minsa Kabanda atikidde 973 Ku Namasuba College.

Abayizi abawerera ddala 973 bebatikiddwa mu masomo agenjawulo kudaala erya Certificate ne Diploma mu by’obusubuuzi n’enzilukanya y’emirimu okuva kuttendekero lya Namasuba College of commerce mu Wakiso.

Minisita wa Kampala n’emirirano Hon. Hajjat Minsa Kabanda yabadde omugenyi omukulu kukumukolo oguyindidde ku Freedom City e Namasuba kunkingizi z’ekibuga Kampala.

Mububaka bwe minisita w’ensonga za Kampala n’emirirano Hajjat Minsa Kabanda akalaatidde abatikiddwa okubeera abatandisi b’emirimu baleme kubera mwabo abajinonya kubanga obukugu bwebafunye bubasobozesa okwetonderawo emirimu nebasobola okufuna ssente. Mungeri yemu minisita akubirizza abatikiddwa okwenyigira munteekateeka za gavumenti ezikulakulanya abavubuka nga ensimbi za Parish Development Model, Emyooga nendala nabo okusobola okuganyulwa mubuwereza bwa gavumenti..

Mubamu kubatikiddwa kwekubadde ne disitulikiti kadhi wa Wakiso Muslim district council Sheik Elias Kigozi Nkangi wamu ne Hajjat Shania kigozi akulira One Ummah Uganda nga bano bombiriri bakuguse mu misomo gya ‘Counseling and Guidance’.

Akulira ettendekero lya Namasuba College of Commerce Munnabyanfuna Dr Hajji Jamiru Ssebalu asabye abayizi bano obutanyooma mirimu mukatale k’okuvuganya ennyo kubanga by’ebimu kubikuumidde abavubuka mubwavu.

ByaTenywa Ismail.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *