Education

Abatalina mwasirizi baduukiriddwa n’ebikozesebwa mukusoma.

Office ya district kadhi wa Wakiso muslim district Sheik Elias Kigozi Nkangi etandise eddimu ly’okuduukirira abaana abatalina mwasirizi n’ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo n’ebyokudda kusomero.

Mubimu sheik Elias Kigozi byawadde abamu kubayizi bamulekwa n’abatalina busobozi mulimu sabuuni ayoza nowokunaaba,sukali,ebitabo,ekalaamu,bayiro,liimu z’empapula,engatto,eddagala ly’amannyo,obusenya,eddagala ly’engatto nebirala.

Bino by’ebimu kubisuubizo bya district kadhi Elias Kigozi byeyeyama nga yakayingira office okutumbula eby’enjigiriza,ebyemizanyo,Daawa,enkulakulana ebuna wonna,okutumbula enyingiza mubakyala,abakadde,ba imam n’abantu bonna.
Enteekateka eno yakuyambako abayiizi abasoba mu 200 nga muno mulimu nabasasuliddwa ebisale by’amasomero. Bino bizze nga ku bbalaza eno 6th/02/2023 abayizi bonna betegekera okuddamu olusoma olugulawo omwaka 2023.

Shk Elias Kigozi


Mububaka bwe sheik elias kigozi eli abasomi abasabye okunyiikira okufaayo kuby’ensoma kubanga ky’ekisulumuzo ky’essanyu,obugagga nenkulakulana, yeyamye nti office gy’akulira eya district kadhi yakusigala nga eyambako kubamusayi muto okugusa emisomo gy’abwe
Omukolo gw’okukwasa abazadde n’abayizi ebintu gukoleddwa kukitebe kya district y’obusiramu eya Wakiso muslim district e Kaliiti mu Busiro.

Bya Ismail Tenywa Kabangala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *