Local

Abaweebwa eza gavumenti badduka ku University lwakubulwa zakulya

12/04/2023

Ababaka ku kakiiko ka palalmenti ak’ebyenjigiriza baguddewo ekigwo bwebakizude nti abamu ku bayizi okuva mu kitundu kya’mambuka ne mu bitundu bye’karamoja abaali basomera ku nteekateeka ya bayizi okusomera ebbanja (higher education loans) baava dda mu zi university olw’okulemererwa okwerabirira nga bali ku zi university.

Kiddiridde akulira enteekateeka eno eya higher education student’s financing board Birungi Christopher okutegeeza ababaka ku kakiiko kano akakulirwa omubaka wa Bunyaruguru John Mwesigye nti mu enteekateeka eno abayizi baabasasulira fees zokka olwo bbo ne beeriisa ko n’okwefunira aw’okusula nga kino kyalemererera abayizi bano

Birungi abuulidde akakiiko nti bagezezzaako okwogera ne ministule ye byenjigiriza awamu ne palamenti okulaba nti abayizi mu bitundu bino baweebwa enkizo basasulirwe byonna basobole okusigala nga basoma naye kino tekinnatunulwamu.

Ababaka ku kakiiko kano ono bamusabye annyonnyole lwaki balemereddwa okusasulira abayizi abasoma kuzi university ezitali zimu ssente nalemererwa,nga bano
era basabye akulira ebikwekweto by’okusasuza fees zino kizito Bbosa abawe olukalala lwa bayizi abagenda okusomera ebbanja mu mwaka gwe byensimbi ogujja nga bagamba nti abayizi balondebwa okuva mu kitundu kye ggwanga kimu.

Mukwewozaako agambye nti teri muyizi abanjibwa fees nti era gavumenti nebweba eruddewo eyogera nezi university nemala nesasula naye abayizi bano balemererwa kweyimirizaawo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *