Politics

Abayizi abagenda mu bigezo bakubiriziddwa okusoma ennyo n’okwekiririzamu.

Abayizi musome – Akulira “Central Police Station” Afande Kassim Matovu.

Abayizi bakubiriziddwa okwekiririzamu n’obutenyooma basobole okutuuka kubuwanguzi n’okuyita okusoomozebwa okujudde munsi.

Omulanga guno abayizi gubakubiddwa afande Kassim Matovu akulira police ya CPS mu Kampala nga asinzidde ku somero lya Kinawa High School Kawempe Campus ku mukolo gwa Duwa y’okusabira abayizi ba S.4 abali muketerekerero k’okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebibindabinda.

Afande Kasim agambye nti okwekiririzamu yemu ku mpagi z’obuwanguzi. Anyonyodde nti n’okulembeza eddini busiramu mubuli kimu n’okutya ennyo Allah kyekirina okulembera kumuntu yenna anawangula.

Akulira essomero lya Kinawa high school kuttabi lya Kawempe Al-hajji Sserugo Muhammad Ali akalatidde abayizi okwewala ebikolwa by’okukoppa kubanga buli ekyetagisa bakikoze abana bano okuyita ebigezo byabwe obulungi nga bwekize kiba buli mwaka.

Asabye abaana bano okuteeka obwesige mu Allah abasobozese okukola obulungi.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *