Politics

AB’ENTEBBE BATTUKIZA ENKOLA YA BULUNGI BWANSI WAKUKOLEBWA BULI LWAMUKAAGA OLUSEMBA MU MWEEZI

ENTEBBE-BUSIRO 29/10/2022

Abakulira ekibuga Ntebe battukiza kwefube omujja owa bulngi wansi, wakukolebwa buli lwa mukaaga olusemba mu mweezi.

Mu mwaaka 2018 ekibuga kye Entebbe kye kya wangula engule yobuyonjo bw’ebibuga ebiri ku mutendera ogwa Municipali mu Uganda,kyoka nekidirira olwabantu okwesulirayo ogwa Nagamba mu ku kuuma obuyonjo bwebitundu byabwe.

Abakulembeze bekibuga kino nga bakulembeddwamu Mayor Fabrice Rulinda nga baliwamu nebitongole ebikuuma ddembe, Amasomero nebitongole byabwanakyeewa battukiza enkola eno bujja ku mukolo ogubadde ku kitebe kyekibuga kino.

Bano basoose kusimba mitti egyekijjukizo olwenkola eno eddiziddwa obujja era yakukolebwa nga buli lwamukaaga olusemba mu mweezi okwetoloola ebyaalo bya Ntebe a 24.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *