Politics

Ab’oludda oluvuganya bakubye ebituli mu kakiiko akalondeddwa amyuuka sipiika Thomas Tayebwa ku mivuyo gya NSSF

Oluvanyuma lw’omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa okutekawo akakiiko kababaka 7 okunonyerezza ku bigambibwa nti ekitavvu kya bakozi ekya NSSF kijjuddemu emivuyo egitagambika wamu neguzi ekiretedde sente z’abantu eziterekebwayo okubulakanyizibwa, ab’oludda oluvuganya government bakubye ebituuli ku babaka abamu abalondeddwa okutuula kukakiiko Kano.

Ab’opposition bagamba nti omubaka Charles Bakabulindi ng’ono yakulira abakozi mu palamenti tagwanidde kutuula ku kakiiko Kano nti ayinza okubamu kyekubira olwo akakiiko ne kadobonkana nga kakola emirimu gyako.

Tayebwa ku kakiiko ke yalangiridde mu parliament kagenda kuba kakulirwa omubaka wa Mbarara city south Mwine Mpaka (NRM) era ngono yabadde sentebe wakikiiko akekiseera akatekebwawo oku nonyereza ku mivuyo egy’omubaka Persis Namuganza, nga kuliko ne bamemba abalala okuli Karim Masaba owa Mbale industrial division atalina kibiina, Mp Kakembo Michael owa Entebbe municipality owa (Nup,)Nantongo Fortunate omubaka omukyala owa district ya Kyotera mina (Dp,) Laura Kanusu akiikirira abantu abaliko obulemu muggwanga lyonna,Kakunda Amos owa Rwampara( NRM) ne Charles Bakabulindi (NRM )akiikirira abakozi mu parliament.

Tayebwa era awadde akakiiko enaku 45 nga kamazze okukola okunonyereza kwako era nakawa n’obukwakulizo obwenjawulo bwekalina okukolerako nga kanonyereza kungeri sente z’abantu eza NSSF gyezikwatidwamu.

Thomas Tayebwa Dep. Speaker

Akakiiko kano katekedwawo mukaseera nga minister omubeezi owaguno naguli mu ministry ye’byensimbi Henry Musasizi yakamala okukakasa parliament nga sente zabantu eza NSSF bwezikuumibwa obulungi.

Era kinajjukirwa nti obuzibu bwona obuli mu NSSF bwatandikira ewa minister w’ekikula ky’abantu Betty Amongi bweyagaana okuzza obujja endagano y’eyali ssenkulu wa NSSF Byarugaba Richard nga agamba nti yali awezezza emyaka 60 egyokuwumulirako.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *