Islamic

Ba Imaam e ‘Wakiso babawadde Embuzi okwekulakulanya.

Omukulembze W’obusiramu mu District ye wakiso sheik Elias kigozi Nkangi era omutandiisi wa Umoja Helping hearts Uganda addukiridde ba Imaam okuva mu district ye eya wakiso gyakulembera mubusiraamu n’embuzi 100 beddu ng’omu kukawefube gwaliko ow’okulakulanya ba Imaam be mu district eno.

Ba Imaam okuva mumatwale agakola wakiso omuli Nansana,Nabweru,Nsangi,Gombe Kitasa,Masulita bebagenda okuganyulwa muntekateka eno ey’okukulakulanya ba Imaam.


Sheik Erias Kigozi agambye nti buli mwezi wakubangako ba Imam baawa Embuzi zino ng’emu kuntekateka ze ez’okulakulanya abantu be. Ba imam abasoose leero buli omu afuunye embuzi satu.

Imaam nga akutte Embuzi ezamuweereddwa

Elias Kigozi agambye nti embeera yaba Imaam ebadde eyungula ezziga nga tebalina mirimu gyankalakalira olw’ensonga nti babadde tebalina nyingiza mumaka nga oli nebwafuna ekizibu tasobola kukyemalira okujjako okutunukira abasiramu,kwekusalawo atandikewo enkola eyokugabira ba Imam omu kw’omu embuzi ezokulunda basobole okwekulakulanya. Agambye nti ba imam ba wakiso bonna bawandiisibwa nebawebwa ebbaluwa ezibakakasa kubwa ne densite.

Kadhi agambye nti nga bayita mu Saaco y’obusiramu eyatondebwawo ku wakiso muslim district e’ Kaliiti Wakiso,bukuyambako ba imam okuva mubwaavu,okukwasizaako abakyala nabavubuka. Era agambye bafuna abakugu mubyenima n’okulunda okusoka okusomesa abo bonna abalina kyebagala okutandikawo. Anyonyodde nti embuzi ezigenda okuweebwa ba imam bano zabwerere era bakugabanga wakati w’embuzi 2-5 era agamba nti bakiwadde emyaka etaano okulaba bwekinaba kikolamu. Kinajukilwa nti gyebuvuddeko sheik elias kigozi ono aliiko abakyala abawerera ddala beyayambako okwekulakulanya nga bayita munkola ya aka bokisi era abakyala ensimbi zino bazikozeseza okutondawo obulimu obuvaamu ensimbi ez’amangu.

Embuzi

Abamu kuba Imam abavudde mu matwale ge Wakiso baniriza enkulakulana eno eleteddwa kadhi wa wakiso sheik Elias Kigozi nebasaba Allah amusasulemu olw’obuwerezabwe obulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *