Bwetukkiriza okulima enjaga abalalu bagenda kweyongera mu ggwanga. Minisita Aceng
Minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng akubye ebituli mu ky’okukkiriza abantu abamu okuweebwa olukusa okulima enjaga nga ono agamba nti singa wano mu Uganda okulima Enjaga kumala ne kutongozebwa,eggwanga lijja kuba lyesudde mu matigga era nga gavumenti ejja kuba yetaaga okuzimbayo ebifo ebirala ebifaanana Butabika ebiwerako olw’abatabufu b’emitwe abajja okweyongera mu ggwanga Uganda.
Newankubadde nga ebbago erigendereddwamu okutangira okulima Enjaga n’ebiragalalagala lyakomezebwawo mu Palamenti era liri mu kukolebwako akakiiko ka Palamenti ak’ensonga z’omunda mu ggwanga kko nebyokwerinda mu ggwanga,Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among era yalagira n’akakiiko ak’eby’obulamu nako okusisinkana ab’eby’obulamu mu ggwanga nabo baweeyo endowooza zabwe ku bbago lino erya Narcotic drugs and psychotropic substances bill 2023.
Kati Bano basisinkanye Minister Dr Jane Ruth Aceng okuwa endowooza ze ku bbago lino wabula ono atandise na kukuba bituli mu ky’okukkiriza okulima Enjaga nga agamba Uganda yanditadde amanyi ku byamaguzi ebirala.
Minisita Aceng era ategeezezza akakiiko nti singa Uganda ekkiriza okulima Enjaga kyakwongera okuwa ebeetu abavubuka abenyigira mu kunywa ebiragalalagala,nga wano agamba eggwanga lijja kuba mu katyaabaga
okuzimbayo ebifo nga Butabika ebiwerako olw’abatabufu b’emitwe abajja okweyongera kuno.Era anokoddeyo amawanga agakkiriziddwa okulima Enjaga nga America,S.Africa,n’amalala gaagambye nti tegava mu mbeera yakutingana nga kino tekyandibadde kirungi kutuuka wano.
Abamu ku Babaka kakiiko kano okuli Dr Christine Nandagire Ndiwalana akiikirira Bukomansimbi North bawagidde ekiteeso Kya Minister Aceng nga agamba gavumenti yanditadde essira mu kukwatirako bannansi okulima ebirime ebisobola n’okutundibwa ebweru we ggwanga nga emmwanyi kiyambako okukulaakulanya eggwanga omuli n’abavubuka okweyimirizaawo.
Bya Namagembe Joweria