Politics

EBY’ETTEEKA KU BIRAGALALAGALA BIWANVUYE. LYONGEZEDDWAYO

16/05/2023

Palamenti ewadde Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka okutuusa ku lw’okuna lwa sabbiiti eno okuba nga akomezzaawo ebbago ku tteeka erikwata biragalalagala li Narcotic drugs and psychotropic substances eryali lyayisibwa palamenti mu mwaka gwa 2016.

Etteeka lino lyagobwa kkooti etaputa Ssemateeka nga 5 omwezi guno nga egamba nti teryayisibwa mu mateeka olw’omuwendo gwa babaka ogwali gutawera.

Omubaka wa Munisipaali ye Bugiri Asuman Basalirwa now’essaza lye Aruu Christopher Komakech olwaleero babadde bakomezzaawo ebbago lino basabe Palamenti ebawe obudde baddemu baliteeketeeke wabula bwebatuuse okulyanjula Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka tabaganyizza nga agamba nti eryasooka lyaleetebwa gavumenti nga era yeerina nalino okulikomyawo.

Speaker wa palamenti Annet Anitah Among agambye nti ekya gavumenti okuleeta ebbago tekigaana mubaka kinnoomu kulireeta nga n’olwekyo Basalirwa aleete ne gavumenti bweneeba eyagala nayo enaleeta bagatunulemu gombi nga wano Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka wasinzidde nakikkaatiriza nti gavumenti ebbago lino eryetaaga speaker bwatyo nawa gavumenti okutuuka ku lw’okuna lwa sabbiiti eno okuba nga ekomezzaawo ebbago lino ku biragalalagala

Etteeka lino lyali liwera okulima,okusuubula oba okugula ebiragalalagala nga Enjaga Amayirungi ne birala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *