Islamic

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’ediini yo’busiraamu kirabudde abalowoza okubibba.

Ekitongole ekivunanyizibwa kubigezo byeddiini y’obusiramu mu Uganda kumutendera gwa secondary ekya Idaadi and Thanawi Examinations Board Kilababudde kububbi bwebigezo nti anakwatibwako kakumujutuka era ne centre number yakusazibwamu.
Ebigezo bya Idaadi(S.4) n’ebya Thanawi(S.6) Thanawi bitandiise kumakya Galeero kubbalaza era nga byakumala ssabiiti namba beddu. Abayizi bebibiina byombi batandiise nessomo lya Quran.

Sheik Sowedi Katumba akola nga ssabawandiisi wekitongole kya Iteb anyonyodde nti abayizi abawerera ddala 2040 bebewandiisa okukola ebigezo bino era byonna byatusiddwa ku bifo awatulilwa ebigezo bino mu budde nasaba abakulira amasomero gonna agakola ebigezo bino okolagana obulungi nebakalondoozi babwe abasindikiddwa okukuuma ebigezo bino okwewala okutataganyizibwa. Omugatte gw’ebifo awatuulirwa guli 112. Sheik sowedi Katumba asabye amasomero gonna okugoberera amateeka nebilagiro ebyatekebwawo govt ya Uganda okutangira okusasana kwekilwadde kya Ebola ekiri mu uganda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *