Islamic

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo ebya Primary ebyobusiraamu kikakasizza abayizi 4209 bebagenda okutuula ebyakamalirizo

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo by’obusiraamu eby’omutendera ogwa primary ekya Islamic primary leaving examinations board wansi w’obukulembeze bw’ekitebe ky’obusiraamu ekikulu ekya Uganda Muslim Supreme Council (UMSC), kirangiridde nti abayizi 4,209 bebagenda okutuula ebigezo ku mutendera gwa primary omwaka guno, ebitandika enkya ku lw’okuna nga 23 nolwokutaano nga 24.

Abayizi omwaka guno beeyongedde n’omuwendo gw’abaana 1,480 okukira ku b’omwaka oguyise, sso nga namasomero agatuuza abayizi geyongeddeko okuva ku masomero 155 okutuuka ku masomero 231.

Ebigezo byakumala ennaku bbiri era ng’abayizi baakutandikira mu kigezo ky’okusoma Quran, olweggulo bakole Alfiqh, amateeka agafuga obusiraamu sso ng’enkeera ku lwokutaano baakutandika n’ekigezo kya Logat Arabuiyyat ekikwata ku lulimi oluwalabu ne Tarbia essomo erikwata ku byaafayo bya nabbi n’obusiraamu.

Ssabawandiidi w’ekitongole kya Islamic Primary leaving Examinations Board, (IPLE), Sheik Kazibwe Ismail, agambye nti ebigezo bino bakubyongeramu amanyi n’obukodyo okusobozesa abantu abenjawulo okubiyita n’okubitegeera obulungi.

Ono era alangiridde nti amasomero galina okugoberera ebiragiro bya ministry yeebyobulamu ku kirwadde kya Ebola ne Covid 19, sso ng’amasomero agali mu district eziri mu muggalo nago galiko ebiragiro ebigawereddwa.

Sheihk Kazibwe era annyonyodde nti baamaze okukaanya ne police okubayambako mu kutambuza ebigezo bino, era ebigezo okutuuka ku masomero byakujjibwa ku bitebe bya police ebiri okumpi naalabula nabazadde, abayizi nabasomesa okwewala ebyokukoperera ebigezo.

Bwabadde asiimbula ekibinja ekisembyeyo okutambuza ebigezo bino, ku kitebe ky’obusiramu e Kampala mukadde olwaleero, Sheik Juma Bakhit Cuccu, ssabawandiisi w’ekitongole ky’eby’enjigiriza ku Uganda Muslim Supreme council, agambye abasomesa bediini y’obusiramu balina okufaayo okwongera ku bukugu bwabwe mu byenjigiriza baleme okusalwako n’okukugirwa ekitongole kye byenjigiriza ekye ggwanga mu mirimu gyabwe.

Sheik Juma Bakhit Cuccu agambye nti kyakubayambako n’okutumbula omutindo gwebyenjigiriza mu masomero g’obusiraamu nokutumbula ediini.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *