Enguzi n’obulyaake biyitiridde mu kuzimba ebisaawe-Mp Kayemba Solo
Oludda oluwabula gavumenti mu by’emizannyo lulaze obutali bumativu lwa gavumenti yawano kukwasa kampuni ya Turkey eddimu lyokuzimba ekisaawe kya Cricket e’Lugogo.
Bagamba nti buli lw’ekwasa musiga nsimbi yenna okubaako kyakolera bannayuganda bamaliriza bafiiriddwa mu ngeri emu oba endala
Kubanga bazudde nti mu kaseera k’okuzimba ebisawe enguzi n’obulyake biyitirira nga ssente eziteekebwawo okuzimba ekisaawe ekimu zisobola okukozesebwa okuzimbamu ebirala nga bibiri
Okwogera bino, kyadiridde omukulembeze w’eggwanga okukkiriziganya ne kampuni ya Summa okuva mu ggwanga lya Turkey ku lwokubiri oluwedde ( September 19) okuddamu okuzimba ekisaawe kya Lugogo Cricket Oval ekigambibwa okubeera mu mbeera embi.
Ekisaawe kino, bakaanya nti kirina okutuuza abantu 15,000, ekifo ekiwugirwamu ekirina okuba ku bugazi bwa mita 25, ekisulo ky’abaddusi nga kisuza abantu 60 nebirala.
Godfrey Solo Kayemba (Bukomansimbi South), minisita w’ebyemizannyo ow’ekisiikirize bino abikubyemu ebituli era nasaba gavumenti nga kampuni tenatandika mulimu gwa gyiwereddwa basooke banjulire minisitule enteekateeka yonna nga bweri ne bye bakkiriziganyizaako nga bwe biri mu ndagaano
Nga asinziira mu lukungaana lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku palamenti yagambye nti newankubadde embeera y’ekisaawe yeralikiriza, bazudde nga ba yinvesita bangi abaweereddwa omulimu gw’okuzimba ebisaawe endagaano bazivaako nebeekolera bye baagala olwo munnayuganda nalekebwa ebbali.
Ababaka abalala okubadde Joyce Baagala Ntwatwa ( Mukazi/Mityana) Hillary Kiyaga( Mawokuta North constituency ) ne Richard Lumu Kizito ( Mityana South) nabo balaze okunnyolwa olw’ebisaawe by’emipiira ebizze bisaanyizibwawo mu linnya ly’okubiikulaakulanya
Bawabudde gavumenti okusooka okugeseza nga ba yinvesita baayo ku bisaawe ebitonotono ebiri mu bitundu ebiriraanye Kampala nga tennaba ku bikwasa ebyo bye bagamba eggwanga kweribeera lyesigamye
Bali mu kutya nti wandibawo ba bbuloka abaagala okutunda ettaka ebisaawe by’emizannyo eby’enjawulo kwebitudde mu linnya ly’okubikulaakulanya
Okumalawo okubuusabuusa mu bannayuganda, basabye gavumenti ebanjulire endagaano eyatuukiddwako mu kuzimba ekisaawe kino.
Bya Namagembe Joweria