Politics

Mulekeraawo okubikkirira abali b’enguzi-Joyce Bagala

Minisita w’ekisiikirize ow’amawulire n’okulwanyisa enguzi Joyce Bagala akubye ebituli mu alipoota ya kaliisoliiso wa gavumenti nti ku buwumbi obusoba mu 86 obubaweebwa buli mwaka okulwanyisa enguzi mu ggwanga okununulako obuwumbi 7 n’obukadde 99 bwokka kyoleka bunafu obufumbekedde mu kitongole era n’abakubiriza obuteebakira ku mulimu.

Mu lukungaana lwa bannamawulire olutuuziddwa ku palamenti, Bagala yagambye nti ekitongole ekirwanyisa enguzi ekikulirwa Beti Kamya kisaanye kireme kuttira liiso ku muntu yenna agambibwa okwenyigira mu muzze gw’okulya enguzi obutafiiriza ggwanga.Obusse 10 (10 trillion) eggwanga lyezifiirwa buli mwaka mu nsonga z’okuyigga abali b’enguzi yalaze nti mpitirivu era nga kyamumalamu amaanyi okuwulira ekitongole mu kwanja alipoota nga kyewanira mu maaso ga sipiika w’eggwanga ng’enguzi bw’ekendedde.

Bagala awakanyizza eky’omukulembeze w’eggwanga okuyimirizza kaliisoliiso okunoonyereza ku by’obugagga bya bannamaggye kyagamba nti kikontana nakawayiro akomusanvu mu tteeka lya bakulembeze (Leadership Code Act) akalagira buli mukulembeze yenna okuwayo eby’obugagga bye mu lwatu okunoonyerezebweko .

Ono era alaze nti ku bakulembeze 32,0000 abaalina okunoonyerezebwako kyannaku nti 26541 bokka be bafunako.

Bbo ababaka okuli Abed Bwanika owa Kimanya Kabonera, Abudallah Kawalya owa Lubaga North, Abudallah Mulima Mayuni (Mukono North) balaze eggwanga byerifiirwa olw’abantu okwagala okwekkusa bokka nokukulumpanya ensimbi zomuwi w’omusolo era baakukuba omulanga okusaawo enkola eyokusomesa amabugye ge ggwanga okwewala okukula nomuze guno ogwobuli bwenguzi.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *