Ensonga za Uganda Muslim Supreme Council zirinnye enkandaggo.
Ensonga z’okukuba ekitebe ky’obusiraamu mu kkooti ekya Uganda Muslim Supreme Council zirinye enkandago Kkooti enkulu eyise file y’omusango guno ekiguviriddeko obutagenda mu maaso mu maaso g’akuliira kkooti ya Mwanga 2 e Mmengo omulamuzi Patrick Ngereza Talisuna.
Abasiraamu nabantu abalala abagala okugoberera ensonga z’obusiraamu bakedde ku kkooti ya Mwanga 2 e Mmengo okusobola okulondoola omusango ogwawawabirwa e kitebbe ky’obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council.
Enjuyi zombi eziri mu musango guno zisoose kwevumba kafubo n’akuliira abalamuzi ba kkooti eno Patrick Ngereza Talisuna nga takirizaamu bamawulire.
Obwedda bo abasigadde wabweru nga batuula bufoofofo n’okuyimirira mu bukukuulu nga oluvanyuma Haji Abdul Kiyimba ayogeddeko nabo nga bwebaweera okutereeza ensonga z’obusiraamu.
Wayisewo akaseera ne Haji Hassan Basajjabalaba najja era bwafulumye kkooti nagumya abasiraamu nti bino bigenda kugwa.
Munnamateeka Musa Kabega okuva ku ludda lwa Uganda Muslim Supreme Council anyonyodde ku musango guno nga bwegusindikiddwa mu kkooti enkulu.
Bo bannamateeka b’oludda lwa Haji Hassan Basajjabalaba okubadde Swabur Marzuq ne Ssekyanzi Lawrence nabo batangazizza ku musango guno era nebalabula abasiraamu obutawudisibwa beenonyezza byabwe era nebalabula omuntu yena obutetabaala kumenya kiragiro kya kkooti ekyatekebwa ku Uganda Muslim Supreme Council obutabaako ne kyebakola kyoka nga kkooti bweyalagira.
Bemulugunyizza olwa kkooti enkulu okuyita omusango guno gwebatanaba nakutqndiika kuwulira era nebategezza nga era omusango guno bwegujja okudizibwa ku kkooti e Mmengo wegubadde.
Ye Haji Abdul Kiyimba anyonyodde n’okutangaaza ku kiragiro kya kkooti kino era nalabula Sheikh Mukulu Obeid Kamulegeya obutayingirira nnyo nsonga zino newankubadde nga amuwa ekitibwakye kubanga bo kyebaliko kuterezza nsonga za busiraamu kyekyoka.
Yerayiridde obutatisobwatiisibwa muntu yena mu nsonga eno era nga abadde awagirwa abasiraamu nga bwebakuba takibiri.
Ensonga zino zatandiika ku lunaku lwa kuna nga 10/01/2023 ekiwayi ky’abakulembezze b’obusiraamu nga kikulembeddwamu Haji Hassan Basajjabalaba ne Haji Abdul Kiyimba bwebasalawo okukuba ekitebe ky’obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council ekikulemberwa Mufti Shaban Mubajje mu mbuga z’amateeka nga bawakanya engeri jebakutemu ensonga z’obusiraamu omuli ebyobukulembezze n’engeri jebakwatamu eby’obugagga by’obusiraamu .