Food & Health

ETTEEKA KU BY’EMMERE LIKUBYE KOODI.PALAMENTI EYONGEDDEMU AMANYI

22/05/2023

Amyuuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa alaze obwennyamivu olw’enjala ekyalemedde mu ggwanga, abaana okuzingama olw’endya embi kyokka nga Uganda erina embeera y’obudde ennungi ne ttaka ejjimu.

Bwabadde aggulawo ssabiiti y’okulwanyisa ebbula ly’emmere mu ggwanga etegekeddwa ababaka ba palamenti abegattira mu mukago gwabwe ogwa Uganda Parliamentary Alliance on Food and Nutrition Security saako ne bannakyewa abenjawulo abakola ku by’emmere n’endiisa mu ggwanga, Tayebwa mu bubaka bwe bwatisse ssentebbe w’akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obulamu era omubaka wa Koboko municipality Charles Ayume agambye nti kye kiseera gavumenti ne bannayuganda okuzuukuka basobole okwettanira embeera ennungi eriwo basobole okulwanyisa enjala.

Ayume ebbula ly’emmere alyesigamizza ku gavumenti okulemererwa okuteekerateekera obulungi eby’emmere mu ggwanga.

Ayume agamba nti wakutegeeza mukamaawe sipiika asosowaze ebbago ly’etteeka ku by’emmere n’endiisa kiyambeko mu kulungamya ensonga ye by’emmere nga waliwo etteeka erirungamya.

Ye akulira ekibiina ekitaba banakyewa abatumbula endya ey’omulembe wano mu ggwanga ekya Civil Society Alliance For Nutrition Uganda, Baguma Tinkasimire Richard agamba nga bayambiddwako gavumenti baakukola ekisoboka okulabanga basomesa bannansi endya ey’omulembe saako n’okumalawo enjala mu ggwanga.

Omubaka we ssaza ly’entwetwe Ssebikaali Joel nga naye wamukago guno obuzibu abutadde kumuze ogw’okutundira emmere ku misiri nti kyekimu ku bisibye enjala mu ggwanga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *