Education

Hamza Islamic Schools bebasinze mu Luweero mubya P. 7 ne S. 4

Abayizi, abasomesa n’abazadde kumasomero ga Hamza Islamic Schools e’Luweero bebazizza Allah olw’okuyita obulungi ebigezo byebaakola ebya P. 7 ne S. 4 omwaka oguwedde. Bano bebaasinze mu district eno era nga abayizi mu bibiina byombi abasinga obungi bayitidde mudaala erisooka, giyite (First Grade).

Omutandisi w’amasomero ga Hamza Islamic schools e’Luwero Omulangira Hajji Walugembe Umar asiimye nnyo Allah olw’ekyengera kyabawadde ebbanga lyonna okusinga mu Luweero yonna mubbanga ery’emyaka ejisoba mu 20 nga bawereza mukisaawe ky’ebyenjigiriza nasuubiza abazadde obutaddirira mubyebakola.


Mukibiina eky’omusanvu bano batuuza abaana 31 era bonna bayitidde mu first grade nga omuyiizi Yiga Salim y’eyasinze banne nobubonero 6, nga ne S.4 abayizi bonna e 10 bayitidde mu first grade nga omuyizi eyasinze bane ye Nakiyunju Irene yafunye 8 mu 8. Abazadde basiimye nnyo omutandiisi wa Hamza Islamic schools olw’okubanguyiza muby’ensoma mu Luweero.

Hajji Walugembe asabye abazadde okwetegereza ennyo amasomero gebatwalamu abaaana babwe oba nga gasomesa eddini kiyambeko okukula nga besiimisa era nga batya Allah.

Omukolo guno ogwokukwasa abayiizi ebyavudde mubigeezo byabwe nokwebaza Allah gwabadde ku somero lya Hamza Islamic schools e Kasana Luweero nga gwetabiddwako abakungu abenjawulo.

Bya Ismail Kabangala Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *