Politics

Ibun Hamis Islamic SS yetisse empaka za Quran ez’abayizi e Kibuli.

Empaka za Quran ez’amasomero ga primary ne secondary ezitegekeddwa ekitongole kya White Lions Umbrella zikomekerezeddwa mubutongole kusomero lya Kibuli PTC mu Kampala era nga ziwanguddwa aba Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matuga Wakiso.

Omuyizi eyettise empaka zino asinze bane mu juzu za Quran 30 ye Zainuddin Yunusu nga afunye ekilabo kyakavu wa sente za Uganda obukadde 2 beddu nga muyizi kusomero lya Ibun Hamis Islamic s.s e Matuga Kigogwa.

Omugenyi omukulu abadde omumyuka wa Director wa Sharia ku Uganda Muslim Supreme Council Sheik Salim Kiyingi Bbosa nga asabye abazadde okwongera okunnyikiza ennyo okusomesa abaana Quran nokujibaagazisa kubanga tesala. Agambye nti ensangi zino abazadde beesuliddeyo ogwanagamba mukusomesa abaana Quran ate nga ky’ekisumuluzo ky’obuwanguzi munsi. Asiimye abazadde abewaddeyo mukusomesa abana eddini kubanga kyamugaso nnyo.

Kubayizi abalala abawangudde kuliko Khairah İsmaili Nakirijja omuyizi okuva kusomero lyerimu erya Ibun Hamis Islamic ss nga ono yawangudde mu Juzu abiri (20) era nga naye awereddwa akakadde kamu aka Uganda mu buliwo. Kinajukirwa nti Khairah İsmaili Nakirijja kulwomukaaga lwa sabiiti eno yeyasinze mu juzu ekumi nettano (15) mumpaka za Quran ezategekeddwa aba Taubah Youth Foundation. N’omuyizi ow’okusatu Kalema Dauda naye avudde kusomero lyerimu. Empaka zino zisaliddwa sheik Ismail Kazibwe Kitiibwa wamu ne Sheik Ismail Semakula nga zetabyemu abayizi abasoba mu 100 okuva kamasomero gobusiramu aga primary ne secondary agenjawulo okwetoloola Uganda yonna.

Akulira ekitongole Kya White Lions Umbrella ngasinzira London mubungereza Matovu Sharukiyu awadde zainuddinu Yunus asinze mu juzu 30 ekilabo kya scholarship yamwaka mulamba nga amuwerera kusomero lyaliko erya Ibun Hamis. Asiimye amasomero agetabye mumpaka nebasubiza nti Empaka z’omwaka ogugya zijjakuba zanjawulo ddala.

Sheik Kaliisa Abdul Rahman omu kubatwala eby’eddini kusomero lya Ibun Hamis Islamic ss Matuga Kigogwa abasinze mumpaka za Quran zino agambye nti guno mukisa gwamanyi okutuuka kubuwanguzi buno neyebaza Allah era nasiima ba director babwe Sheik Amir Katudde ne Sheik Siraje Kasirye olwokubwa buli kyetagisa mukusoma obulungi nayozayoza essomero lyabwe n’abayizi babwe olwekkula lino.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *