Mbogo High bakwomyewo nabuwanguzi okuva e’Zimbabwe
Tiimu y’abaana abawala eya Badminton okuva kusomero lya Mbogo high school Tula ekomyewo mu ggwanga era basiibye bajaganya n’okwebaza Allah olw’okuwangula ekikopo kya Africa ekya Badminton natte omulundi ogwokubiri mu mpaka z’amasomero ga Africa agawerera ddala mukaaga eziyitibwa All Africa secondary Schools Badminton Championship 2023 ezibadde ziyindira e Harare mu ggwanga erya Zimbabwe.
Bano era bawangudde n’emidaali mwenda.Empaka zino zibadde ziyindira mukibuga Harare ekya Zimbabwe. Emidaali egyiwanguddwa Mbogo High school kuliko 5 egya gold, 2 egya bronze ate 2 egya silver.
Obuwangazi buno mbogo high bwebatuseeko bamaze kuwuttula tiimu y’esomero lya Rubaga girls obugoba 4-1. Empaka zino zetabiddwamu amasomero agenjawulo okuva mu Uganda n’amawanga ga Africa agenjawulo.Aba Mbogo high school guno sigwegusoose okuwangula ekikopo kya Badminton kino nga n’omwaka oguwedde ogwa 2022 bebanantameggwa b’empaka zino ezayindira mu ggwanga erya Mauritius.
Omutendesi wa Team y’abaana bano abawala aba Mbogo high school William Kabindi agambye nti obuwangazi buno babutuseeko oluvanyuma lwokutendekebwa ennyo n’okwesigamira Katonda.
Abawala abawangulidde Mbogo High ekikopo n’emidaali bali batano nga kuliko Naluwooza Tracy,Bukenya Ramiah,Mbabazi Sharifa,Nakiyemba Nazifah,ne Nalutaya Swaburah nga bonna bakomyewo balamu bulungi okujjako Naluwooza Tracy eyagenze e Malaysia okwongera okutendekebwa mumuzanyo guno ogwa Badminton.
Akulira esomero lya Mbogo high school Hajjat Maka Zainab Kakeeto ayozayozeza tiimu ya badminton eno eyabana abawala olwobuwanguzi bwebabatusizako natte.
Asiimye abatandisi ba Mbogo schools okuli Dr. Hajjat Zauja Ndifuna Matovu, Dr. Ibrahim Matovu, Hajji Damulira Abdul Noor ne Hajji Ma’azi Lulagala olw’obuwagizi n’obuyambi bwebabawa okusobola okutuuka kubuwanguzi mubyensoma n’ebyemizannyo nasuubiza nti n’omwaka ogugya bakuddamu bawangule.
Bya Tenywa Ismail.