Politics

Palamenti esiimye abaaliko ba sipiika n’emotoka kapyata

Palamenti egabye emmotoka kika kya Land Cruiser –300 Toyota eri abaaliko ba sipiika b’eggwanga bataano zibasobozese okusigala nga bawereza eggwanga n’okutambuza obulamu. Kigambibwa buli emu yamazeewo obukadde bw’ensimbi 600.


Abafunye emotooka zino kuliko, Rt. Hon. Edward Kiwanuka Ssekandi ono yali sipiika mu palamenti ey’omusanvu n’eyomunaana okuva 1998-2001 , Rt. HON. Rebecca Kadaga eyali sipiika wa palamenti y’omwenda n’ekkumi, Rt. HON. Alhajji Moses Kigongo ono yali wa palamenti y’okutaano(1986–1996 ) era nga ye mumyuka w’a ssentebe w’ekibiina kya NRM , Rt.Hon Edward Rugamayo eyakubirizanga palamenti ey’okusatu 1979-19 80) ne Rt. Hon Francis Butagira yali wa palamenti ya kuna (1980-1985).

Sipiika wa palamenti Annet Anita Among bwe yabadde abakwasa emmotoka zaabwe yategeezezza nti kibakakatako okubasiima nga bakyali balamu olw’emirimu amakula ge bakoledde eggwanga okusinga okulinda okuboogerako ebigambo ebirungi nga bavudde mu nsi.

Okugaba emmotoka, Among yategeezezza nga bwe kikoleddwa mu mateeka nga bwe kyakanyizibwako palamenti mu teeka ery’akasiimo erya “The parliamentary pensions Amendment Bill, 2022” nti buli eyaliko sipiika okuva mu mwaka gwa 1979 ateekwa okusiimibwa.

Emmotoka zino zijjakuba zikyusibwa buli luvanyuma lwa myaka etaano era nga okuzirabirira, amafuta n’essente ezisasulwa ddereeeva byonna bijakukolebwangako palamenti.

Olw’okuba mmotoka za Gavumenti , yabategeezezza nti singa efuna obuzibu bwona wadde nga tennaweza mwezi tebasaanye kutya baddembe okujikomyawo nebawebwa endala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *