Politics

Minisita Namuganza yekanddaze nava mukakiiko akabadde kamukunya.

Minister Persis Namuganza

Minister omubeezi owe by’ettaka ,amayumba nokutekeratekera ekibuga omumbejja Persis Namuganza yekandaze nafuluma kakiiko ka paalamenti akavunanyizibwa ku mpisa ne mateeka bwategezeza nga ye bwatayinza kutuula mu kakiiko Kano nga ensonga ze zeri mu mbuga za mateeka.

Minister Namuganza era asabye sentebe wa kakiiko kano amuwe nensala ya sipiika mubuwandiike kwossa nobuwandiike bwabajulizi abamulumiriza okusiiwuka empisa asobole okwetegeka obulunji ekintu Akakiiko kyekagaanye nga bamugamba nti kasita abajulizi webaali mu buntu.

Ono olufulumye Akakiiko Kano nategeza banamawulire nga bwatasobola kutuula mu kakiiko akatayagala kumuwuliriza nga omuntu ku ddaala lyaliko nga alina nabantu bawereza abamussaamu ekitibwa nga kilabiika abali ku kakiiko Kano bagala kumulwanyisa..

Sarah Opendi ngono yomu kubajulizi bimukalidde ku matama bwalemereddwa okuletta obujulizi obulumika minister Persis Namuganza era nga kati kisigaridde eri Akakiiko okusalawo kiki kyekazako nawankubadde kakyagenda mu maaso nokuwuliriza abajulizi abalala okuva mubaka ba paalamenti abenjawulo okuli owe Bukooli central Solomon Sselwanyi, moris Kibalya owe bugabula North owe Kasiiro Elaija Okupa nabalala..

Minister Namuganza okusindikibwa mu kakiiko Kano kinajukirwa nti akakiiko akatekebwawo akenjawulo ,spiika wa paalamenti Anita Among kukunonyereza ku mivuuyo ejaali gyetobese ku taaka lye Naguru Nakawa kafulumya alipoota nga eraga nti minister Ono yaali mumivuuyo ejili ku ttaka eryo , minister kyayawakanya nategeza nga Akakiiko ako bwekalina ebigendererwa ebyokumononera elinya lye era nti tekalina makulu nabuyinza kumuvunaana ,ekyawaliriza spiika wa paalamenti Anita Among okumusindiika mu kakiiko aka paalamenti aka kwasiza empiisa okumunonyerezeko ku neyisaye embi kosa nokumusaamu empiisa oluvanyuma lwa babaka banne okuletta ekiteeso eri paalamenti nti asanide akagavurwe olwokuyisa olugayu mu mulukiiko lweggwanga olukulu wamu na kakiiko ka parliament akasibwawo akenjawulo mukunonyereza ku mivuuyo ejaali ku ttaka lye Naguru Nakawa. aka Adhoc committee .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *