Islamic

Mukole Hijja nga mukyalina obusobozi n’amaanyi-Sheikh Hamis Mawejje

Abalamazi abagenda ku mikolo egya Hijja omwaka guno bakubiriziddwa okufuba okulaba nga berekereza byonna basome byonna ebikwata ku Hijja okusobola okutegeera obukulu bwemikolo gyebagendamu nebikolebwa mubuli kifo eky’enkizo.

Omulanga guno abalamazi gubakubiddwa omutandisi w’ekitongole ekitwala abantu e Makkah ne Madinah kumikolo gya Hijja ne Umrah ekya Almisibaahu travel agency sheikh Hamis Mawejje Elias Omugalanda nga asinzidde kumuzikiti gw’eWandegeya mu Kampala bwebabadde baggulawo mu butongole okusomesa abalamazi babwe kumikolo gya hijja,emisomo gino gyakuberangawo buli lwamukaga kumuzikiti gw’Wandegeya okutuuka lwebanasitula okwolekera mu Saudi Arabia.

Sheik mawejje agambye nti nga ojeeko ekyokuba nti bakulembera abantu babwe mubuli mukolo ogukolebwa,naye kyankizo nnyo omuntu okukenkuka mwekyo kyagenda okukola kiyambeko okwanguyirwa. Agambye nti abalamazi bonna basaanidde okutwaala emisomo gino nga mikulu.
Sheik Mawejje takomye okwo asabye abalina obusobozi okukola hijja nga obudde bukyaali kumyaka gyonna,kubanga teli amanyi kiddako mumaaso mubulamubwe.

Ono takomye okwo asabye abantu bonna okwanguyirazanga okusoma nga obudde bukyaali kibayembeko okwetekateka.

Emisomo gino gyikulembeddwamu sheik Issa Kakembo, Dr Jaffar Ibrahim Mugerwa,sheik Khalid Zubair Jjemba,sheik Khasim Kiyingi,sheik Hamis Mawejje,sheik Bashir Ssentamu, Sheik Bruhan Muhusin Kiti nabalala.

Abalamazi ba Almisibaahu travel agency basuubira okusitula nga okwolekera e Makkah nga 15/06/2023.

Bya Tenywa Ismail

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *