Mukuume abaana mu luwummula- Dr. Kiyimba.
Ng’abayizi b’ekibiina eky’omusanvu bamaliriza ebigezo byabwe eby’akamalirizo olunaku olwaleero olwokuna, abazadde bajukiziddwa okulondoola n’okukuuma abawumuzze bonna obutiribiri okwewala okugwa mu nsobi n’okuyiga emize egyenajwulo.
Obubaka buno abazadde bubawereddwa Alhajji Dr. Abdul Hamid Kiyimba dayirekita wamasomero ga Sweetvalley Islamic Schools e’Ddegeya- Kibajwe Bombo kumukolo ogwokusabira abayizi ba P.7 wamu n’okuttikira abayizi ba Top class. Akulembeddemu omukolo gw’okusabira abayizi bano ye sheik Nuuman Muhammad Al haffiz akulira ekitongole kyobwanakyewa ekya Sham Islamic Organization.
Dr.Kiyimba anyonyodde nti abazadde balina okubeera obulindaala kubaana olw’ensonga emize mingi ejibutidde ensi nga buvunanyizibwa bw’abazadde okulungamya n’okubuulirira abaana bano okusigala kumulamwa.
Bwatyo mungeri yemu akalatidde abayizi abali mubigezo okwesigamira Allah n’okwongera okumusaba ennyo abayise ebigezo mumadaala amalungi. Kusomero lya sweet Valley Islamic schools e Bombo Ddegeya batuziza abayizi 38 mumwaka guno ogwa 2023. Esomero lino lyelimu kumasomero amatono mu Uganda omulabirirwa abana abataliko mwasirizi.
Dr Kiyimba Hamid asiimye nnyo abazadde ababawadde abana kumasomero ga Sweet Valley Islamic Schools nabasuubiza nti n’ebigezo by’omwaka guno bajja kubikola bulungi kubanga n’ebyemyaka egiyise tebasulanga kumwana yenna nebebaza Allah olw’ekkula lino.
Abayizi aba P.7 batandise ebigezo byabwe kulwokubiri era nga eggulo lwebatandise okuwandiika ebigezo bino mubutongole nga basoose n’ekigezo ky’okubala ate nebakola ne Social Studies kati leero kulwokuna lwebawunzika ebigezo bino mubutongole nessomo lya Science olweggulo bamalirize nessomo ly’olulimi olungereza. Abayizi abasoba mu mitwalo 740000 betatudde ebigezo bya P.L.E omwaka guno okwetolola Uganda.
Bya Ismail Tenywa.