Mutuwe olukusa tuwambe ebyobugagga by’abalya enguzi- IGG Kamya
Obutabeerawo na tteeka libowa bintu bya bali banguzi liremeseza kaliisoliiso wa gavumenti Beti Kamya emirimu era nga libaviiriddeko okuddirira mu nsimbi zebanunula okuva mu bazibulankanya mu bitongole bya gavumenti ebby’enjawulo.
Mukwanjula alipoota ssatu eri ofiisi ya sipiika wa palamenti Anita Among okuli January-June 2022, July- December 2022 ne January- June 2023 zayolese nga ensimbi ezanunulwa mu alipoota ezasembayo zikendedde era nga ku buwumbi 38 n’okubadde 70 banunnulako obuwumbi 7 n’obukadde 99.
January – June 2022 banonyereza ku bantu 709 nga baalina okununula obuwumbi 13 wabula nebanunulako obuwumbi 2 n’emitwalo 60, mu July- December 2022 abantu 489 bebanonyerezebwako nga basuubira okununnula obuwumbi 20 wabula nebanunulako obuwumbi 2 n’obukadde 30 ate okuva nga January- June 2023 banonyereza ku bantu 330 nga basuubira okununula obuwumbi 5 n’obukadde 70 wabula nga banunuddeko obuwumbi 3 n’obukadde 60.
Kamya yagambye nti ebitundu 80 ku 100 ku mmotoka zebalina nkadde nnyo nga nezimu ganyegenya kati olw’okumala emyaka egisoba mu kkumi nga bazikozesa kyeyagambye nti kibaviriddeko okubeera tebakyasobola bulungi kutambula ngendo mpanvu kunonyereza ku babbi abamu.
Okulwawo okufuna ensimbi okukola emirimu, okuweebwa ensimbi ezitamala okweyambisa enkola ya ‘digital’ nga bakungaanya obujjulizi , okubeera n’abakozi abatono Kamya yagambye nti bye bimu kubikyabalemeseza okutuuka kubiruubirirwa byabwe eby’okukwata ababbi n’okununula ensimbi.
Ebyenyanja ebinene (ababbi abanene ) mu gavumenti yagambye nti bakyalemereddwa okubikwata lwa nsonga nti byeyambisa abakozi ba wansi muzi ofiisi zaabwe okubakolera vvulugu.
“omuntu ayinza okusaba obukadde 200 nebamuwaako obukadde 100 bwokka wabula nga ebiwandiiko byalina biraga nti afunye 200 era nebamutegeeza nti bagyeko ekyojja mumiro okumuyambako okuzifuna kati olwo ezibiddwa neziba nga tezirina lisiiti era nekyewuunyisa tebaziteeka ku akawuunti zaabwe.” Kamya bweyategeezezza.
Ekivudde mukino kwekukwata ate bassalumanya olwo ebyenyanja ebinene nebisigala nga biyinayina olw’okubulwa eteeka mwebabikwatira era nga kino yagambye nti bakisalidde dda amagezi nga bakuleeta eteeka erimanyiddwa nga Civil Assets Recovery Act.
Vicent Kasujja akulira eby’amateeka mu ofiisi ya Kaliisoliiso yanyonyodde nti eteeka lino lyakubayambako n’okubowa ebintu ebibeera ebweru w’eggwanga ababbi byebabeera bakoze mu nsimbi zebabeera babbye.
Yagaseeko nti ekikyabalemesezza okulireeta kwekuba nga wakyaliwo omuwaatwa gw’okukwataganira awamu n’abantu abalala abatekeddwa okulibaga abatanavaayo kubegatako balibage.
Yye kamisoona wa palamenti Esther Afoyochana (mukazi/Zombo) nga yeyakiikiridde sipiika wa palamenti yasabye bano okunoonyereza ku babba ensimbi z’okukulakulanya abantu ba wansi eza Parish Development Model zeyagambye nti nnyinji zibbiddwa nezitatuuka ku bantu ate nga ssente za gavumenti.
Yasabye bannabyabufuzi naddala ababaka ba palamenti okuyamba ku kitongole kino okulondoola abagyaagyamya ssente za gavumenti.
Yagambye nti eteeka lino bwerinaaba lizze palamenti ejja kulitunnulamu kubanga amateeka mwebalina okukolera.
Bya Namagembe Joweria