Politics

One Ummah Uganda bagabye Zakkah eri abantu 200

Ekitongole kya One Ummah Uganda ekikulirwa Hajjat Shania Kigozi kigabidde abantu abawerera ddala 200 Zakkah ey’ensimbi enkalu okubayambako okwongera amaanyi mu bulimo bwabwe bwebakola. Omukolo ogw’okugaba Zakah eno guyindidde wali kukitebe ky’obusiramu ekya Uganda Muslim Supreme council.

Abantu abaganyuddwa mu Zakkah eno kuliko banamwandu,abavubuka abalina obulimu obutonotono, Abakadde,abawalimu,abaazinyi,abaliko obulemu kumibiri gyabwe nabalala.

Omugenyi omukulu abadde amyuka Mufuti wa Uganda asooka His Eminence Sheik Abdallah Ssemambo Tamusuza akalatidde abawereddwa Zakkah okujikozesa obulungi bajongere mumirimu gyabwe nabo emirundi ejinaddako basobole okubera mubanayamba abalala, akubiriza abasiramu abalina obusobozi okutoola zakkah mu maali yabwe kubanga ekilubirirwa muyo kutukuza maali wamu n’okuyamba okukwasizaako abeetavu. Mufti asiimye Hajjat Shania Kigozi wamu ne Sheik Elias Kigozi Nkangi olw’omutima gwebalaga munkulakulana ya Uganda. Mufuti era asiimye nnyo emirimu egyikolebwa ekitongole kya One Ummah Uganda ne One Ummah UK nabasaba obutaddiriza mumirimu gyebakolera obusiramu bwa Uganda.

Akulira One Ummah mu Uganda Hajjat Shania Kigozi asabye abawereddwa zakkah eno okujikozesa ebyo byebalaze mubbaluwa zebakozesa okusabaza wamu n’okubayambako okukyusa obulamu bwabwe ne family zabwe. Hajjat Shania agambye nti Zakkah eno ewereddwayo mikwano gyabwe abasinzira e Bungereza nabasaba okubasabira ennyo wamu n’ekitongole kya one Ummah Uganda omuyitidde obuyambi buno.

Yye district Kadhi wa Wakiso Muslim district Council Sheik Elias Kigozi Nkangi asabye abawereddwa Zakkah eno okufuba okulaba bazikozesa okwongera mumirimu egyongera okuyingiza mu famire zabwe. Asabye abantu abalina obusobozi okutoola zakkah kubanga eyamba nnyo okukyusa obulamu bwabantu abawejjere.

Omukolo guno gwetabiddwako abebitiibwa bangi omuli Ssabawandiisi wa UMSC munamateeka Muhammad Ali Aluma, Munnabyanfuna Hajji Jamairu Ssebalu, Sheik Bruhan Muhusni Kiti,nabalala bangi.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *