Politics

Muyambe abatalina mwasirizi- Sheik Elias Kigozi

.

Ekitongole ekya Umoja Helping Hearts Uganda ekikulirwa district Kadhi wa Wakiso Sheik Elias Kigozi Nkangi kizimbidde Wilson walusimbi amaka ng’ono mutuze we masulita mu district ya Wakiso Enyumba empya.

Enyumba eno emukwasiddwa ssenkulu wa Umoja Helping Hearts Uganda Sheik Kigozi. era nga etereddwamu ebikozesebwa omuli obuliri,telefayina,Radio wamu n’akagaali akakozesebwa abaliko obulemu okumuyambako kuntambula.Enyumba eno ezimbiddwa ekitongole kino nga bayambibwako mikwano gyabwe abalungi.

Mububaka bwe sheik Elias Kigozi asabye abalina obusobozi okuduukirira kw’abo abali mubwetavu olwo emikisa lwejijja okubukala munsi. Agambye abantu nga bano abaliko obulemu betaaga okufiibwako nabo okusobola okweyagalira mu mbeera gyebalimu. Kino kyadiridde district kadhi okukyalako e’Masulita gyeyasangira Walusimbi Wilson nga obulamu tebweyagaza nga n’enju mwabadde asula eri yegeyege nga n’obulamu mwaali tebweyagaza.

Sheik Kigozi takomye okwo agambye nti abantu nga bano betaaga okuzaamu esuubi era nakubiriza abantu obutagwamu suubi kubanga esawa yonna Allah akyuusa obulamu bw’omuntu alina okukkiriza.

Bya Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *