MV Kalangala yakuddamu okusaabaza abantu ku mazzi enkya
Kyaddaaki emmeeri ya MV Kalangala ewedde okudabirizibwa ng’akati yakuddamu okusaabaza abantu kulunaku olwokusatu oluvanyuma lw’omwezi mulamba ngabajidabiriza.
Kinajjukirwa nti Emmeeri ya Mv Kalangala yayimirizibwa ngennaku zomwezi gwa 25 omwezi gwokubiri Omwaka guno ogwa 2023 Oluvanyuma lwa yingini okwononeka .
Emmeeri eno ettikka abasaabaze abali wakati wekikumi ne 150 ,emmotoka entono munaana,nobuzito bwemigugu obuwereza ddala tone 165 ng’akati ebyobulambuzi nebyobusuubizi bibadde byaagotaana olwebbeeyi ey’ebidyeeri eri waggulu enyo.
Bino bitegezeddwa omubaka wa Bujjumba mu district ye Kalangala Hon Julious Mukasa Opondo nga Ono okukakasa bino abadde mubitundu bye Nakiwogo gyabadde agenze okulambula mulimu guno okulaba wa wegutuuse
Opondo wano wasinzidde neyebaza gavumenti saako nekitongole Kya ministry ya works olwensimbi ezitekeddwamu mu bwangu okulabanga emeeri eno eddabirizibwa wabula nasaba wabeewo emeeri endala ebeera etekebwawo okwongera okwanguya kubyentambula kubizinga.
Omubaka Opondo agamba bweba gavumenti teneteekateeka kubongera ku mmeeri ndala ,ministry y’ebyentambula esaanye ekole enongosereza muteeka elifuga entambula yokumazzi,kiwe ekyanya abantu ababulijjo abalina obusobozi okugula ebidduka ebinene ngemeeri okusobola okwanguya entambula mubizinga ngagamba nti emeeri emu tekyamala bantu mubizinga bino.
Akuliddemu Omulimu gwokudabiriza emmeri eno, Eng Bossa Katazza agamba enteekateeka zonna ziwedde ngakati kyebalindiridde kwekufuna ebbaluwa okuva mubakugu ekakasa nti emeeri eno etuukiridde okuddamu okutambula ng’era kino bakisuubira obutasukka kulwokusatu lwa sabiiti eno.
Bbosa agamba ngojeeko yingini eyaali yayonooneka, waliwo ebintu ebirala bingi ebidabiriziddwa kummeeri eno ng’era kati eri kumutindo gwansi yonna.
Bya Namagembe Joeria