Omubaka Zaake aggaliddwa wabweru wa yafeesi.
Omubaka wa Mityana Municipality Francis Zaake nebanamateeka be enkya ya leero balemereddwa okuyingira eyali wofiisi ye nga Kamisona wa palamenti oluvanyuma lwa kooti ya ssemateeka okusalawo ku kusalawo kwa palamenti okwanja Zaake ku bwa Komisona.
Mukusalawo kwabalamuzi banna abakiriziganya wabula omu nabawukanako mumwezi gwomwenda, eyali amumyuka wa sipiika mu kiseera ekyo Anitah Among eyakubiriza olutuula olwo kyaali kikontana namateeka gokuwulirizibwa kubanga omusango gwali gukwata kuye ate kenyini nagwesalira.
Zaake abadde awerekeddwako banamateeka be Ssasi Marvin ne Eron Kiiza nga bagala okuyingira eyali wofiisi ya omubaka Zaake nga komisona wabula basanze muggalo. Banno babadde ne bbaluwa etekeddwako omukono gwa omumyuka gwa Kalani wa palamenti Henry Yoweri Waiswa nti takyali Kamisona era agende ku wofiisi endala eyamuwereddwa ku kizimbe kya Queens chambers ku luguudo lwa palamenti avenue nga omubaka omulala yenna.
Kyokka Zaake kino akiwakanyizza nalayira nga bwagenda okozesasa engeri endala zonna okufuna wofiisi eno eyamuweebwa nga Kamisona okuva mu kibiina ekya National Unity Platform party.
Mukwogerako namwogezi wa palamenti Chris Obore, agamba nti omubaka Zaake omusango gwe agulina na sabawolereza wa gavumenti nga ono kyebamanyiiko nga palamenti nti yajjulira ensalawo ya kooti.
Obore ayogerako nti Kamisona tarina byaama byonna kubanga kanno kakiiko kaddukanya mirimu gya palamenti kifo kya bannayuganda bonna ekitalina byaama.
Bya Namagembe Joweria