Islamic

Owa Ubbayi Islamic schools eyagenda mu mpaka za Quran e’Dubai ayaniriziddwa nga muzira

Omuyizi munna Uganda Hafizhu Abdul Karim Kabiito okuva ku somero lya Ubbayi Islamic schools and Quran Memorisation Center e’Bwebajja akomyewo mu ggwanga okuva e’Dubai gyeyakyikiridde Uganda mu mpaka za Quran ez’ensi yonna ezabuli mwaka ezimaze sabiiti bbiri nga ziyindira mu ggwanga lya United Arab Emirates e’Dubai. Empaka zino ziyitibwa Dubai International Holy Quran Contest era zez’omulundi ogwa 26 bukyanga zitandikibwawo.

Omuyizi ono akomyewo mu Uganda leero era nga ajidde kunyonyi ya Fly Dubai. Hafizhu Abdul Karim Kabiito akutte ekifo kya 11 era afunye obubonero 97.15% ku 100% Munsi yonna okuva mumawanga 120 agetabye mu mpaka zino. Ono awereddwa agalabo omuli kavu w’ensimbi omutwalo gumu n’enkumi bbiri eza Dollar ($12000). Ate ye Omuyizi asinze banne avudde mu ggwanga erya Bangaladeshi awereddwa emitwalo gya dollar ejisooba mu $60,000 naddirirwa eyavudde mu Ethiopia.
Kabiito ye muyizi yekka munna Uganda eyakwatidde Uganda bendera mu mpaka zino. Omuyizi ono asoma S.3 era omwaka guno gwagenda n‘okutuliramu ebigezo bya Idadi ebya S.4 ebyeddiini.
Twogeddeko ne Kabiito nga yakatonya kukisawe entebbe natubulira nga empaka bwezatambudde era nasiima katonda amukoledde ekkula lino wamu n’abakulu b’esomero erikurirwa Dr. Hafizhu Muhammad Haruna Bukenya olw’okumukwasizako nasobola okwetaba mumpaka zino nakwata ekifo kyokumwanjo.

Yye director w’amasomero ga Ubbayi Islamic schools and Quran Memorization center e Bwebajja Ssekiwunga ne Bombo Dr Hafizhu Muhammad Haruna Bukenya alaze essanyu oluvanyuma lwokuba nti omuyizi wabwe Hafiz Abdul karim kabiito yeyakwatidde Uganda bendera mu mpaka zino nagamba nti kino kitegeeza kinene eri eggwanga nti nalyo lisobola okuvaamu abantu abavuganya kumutendera gw’ensi yonna nasubiza nti sibakuddiriza.

Abamu kubetabye mukwaniriza omuyizi ono kubaddeko omu kuba director ba Pearl fm era akulira Salam TV Dr Alhajji Abdul Karim Kaliisa nga ono asabye abazadde okufuba okuwerera abaana mu masomero agalimu eddiini kibayambe okukula nga bampisa,betowaze,bakwata mpola mubalala kubaddeko sheik Imran Ssali atwala ensonga z’eddini ku kitebe ky’obusiramu ekya UMSC Sheikh Imran Ssali, omukulu w’ettwale ly’Emakindye Ssabagabo Sheik Ismail kazibwe nabala.

Bya Kabangala Ismail Tenywa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *