Politics

Palamenti egobye alipoota ya minisita ku bbeyi yamafuta erinnya

Palamenti ekubye ebituli mu alipoota ereteddwa minisita omubeezi avunanyizibwa ku bya mafuta ne by’obugagga ebyomuttaka Akaasai Opolot Sidronius ebadde enyonnyola embeera eviiriddeko ebbeeyi ya mafuta okupaluuka , Ababaka gyebagambye nti terina weyambira bannayuganda.

Bwabadde alabiseeko mu lutuula lwa Palament olwaleero olukubiriziddwa sipiika wa palamenti Annet Anita Among, minisita omubeezi owa ow’ebyobugagga ebyomuttaka Akaasai Opolot Sidronius asomedde palamenti alipoota ebadde erindiriddwa ku nsonga lwaki ebbeeyi ya mafuta yazzeemu okulinnya kyokka ababaka bakanze kulinda nga temuli kiyinza kukolebwako ku miwendo gino.

Minister ategeezeza nti amafuta galinnye okwetoloola eggwanga nga gavumenti terina ngeri gyeziyizamu mbeera kubanga Uganda terina mafuta gaayo nga gekozesa egagya mu ggwanga lya Kenya,nga ekya dollar okulinya nga kati eri ku 3725 minister agamba nakyo kikoze kinene okulinnyisa ebbeeyi ya mafuta.

Ababaka okubadde Joseph ssewungu Gonzaga omubaka we kalungu west ne Betty Ethel Naluyima omubaka omukyala owa wakiso balabisenga tebamatidde ne alipoota ya minister nga nekisinze okubennyamiza temubaddemu nteekateeka egenda okuyitwamu kugonjoola kizibu Kya miwendo gya Mafuta era basabye sipiika okulagira minisita okuddayo yeetegeke aleete alipoota ennambulukufu ewa amagezi ku butya gavumenti bweyetegese okumalawo ekizibu kino.

Wano omubaka wa kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda wasinzidde naleeta ekiteeso nga ayagala palamenti egobe alipota ya minister kuba ebadde terina weyambira muntu wa wansi sipiika Among kyatakiriza bwatyo nasaba ababaka abawagira ekiteeso kya Ssemujju okuwanika emikono wabula okukakana nga ababadde tebakisembye nga be basinze bwekityo ekiteeso nekigobebwa.

Sipiika Anita Among ategeezezza minister nti palamenti eyagala okumanya empenda ezigenda okuyitwamu okunogera ekizibu kino eddagala nga kwotadde n’okumanya embeera amaterekero gamafuta wegayimiridde agenjawulo Uganda gerina bwatyo naamulagira okudda olunaku lwenkya kyongere okubaganyizibwaako ebirowoozo.

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *