Politics

Ssabaminisita agaanye okwogera ku bbomu ezitegebwa, n’okutegululwa mu ggwanga

05th September 2023.

Omumyuuka wa Ssabaminisita w’eggwanga owokusatu Rukia Nakadama akombye kwerima nti minisita w’ebyokwerinda siwakwogerako eri Palamenti ku nsonga za bbomu eziyitingana mu ggwanga okutuusa nga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni abawadde olukusa.

Kino kidiridde Sipiika wa palamenti Anita Annet Among okuvaayo neyemulugunya eri Palamenti bwabadde aggulawo olutuula lwa leero
nga gavumenti bwetavuddeyo kulambika ggwanga nokulitegeeza wetuuse kubulumbaganyi bwa Bbomu obususse mu ggwanga.

Mubbanga lya sabiiti emu abebyokwerinda bakategulula bbomu eziri mu musanvu, sabiiti eno bbomu zize zizuulibwa ngakati banayuganda emitima batambula gibewanise.

Wano ababaka ba palamenti abenjawulo ngabakulembeddwamu akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga Nsamba nabo bavuddeyo nebasaba minisita webyokwerinda okuvaayo atangaaze eggwanga kunsonga yobyokwerinda era bwatyo nanenya ba minisita okwesurirayo ogwa Naggamba nokutwala ensonga yebyokwerinda eyolusaago.

Mukugezaako okwanukula ababaka, omumyuuka wa ssabaminisita owokusatu Rukia Nakadama agamba ensonga ya bbomu mu ggwanga nkulu nyo era siyakubalatiramu nga minisita w’ebyokwerinda takirizibwa kujogerako mu Palamenti okutuusa nga omukulembezze w’egwanga Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nabaako gwawa olukusa okujogerako.

Bwatyo Speaker takiriziganyizza ne sabaminisita Nakadama era bwatyo asinzidde wano nasaba minister gwekikwatako aveeyo anyonyole palament kungeriki gavumenti gyeteekateeka okulabanga ekwasaganyamu ensonga ya bbomu muggwanga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *