Politics

Palamenti ekungubagidde eyaliko minisita

Palamenti ekungubagidde eyaliko minisita w’ebyobulamu mu gavumenti eno Henry Kisaja Magumba Kyemba ngono yawereezako ne mu gavumenti endala bbiri okuli ne ya idi amino ngomuwandiisi wa Pulezidenti owekyama, nebamogerako nga omusjja eyali owa mazima, omulambulukufu ate mwoyo ggwa ggwanga.

Omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa ayogedde ku mugenzi nga abadde ow’enkizo mu by’obufuzi by’eggwanga okuviira ddala ku mulembe gwa Idi Amin Dada era n’asiima omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw’okumusembeza eri abantu abasobodde okumuganyulwamu.
Ekiteeso kyokusiima emirimu gyo’mugenzi Henry kyemba kireteddwa Ssabaminisita wa Uganda owokusatu Rebecca alitwala kadaaga bayogedde ku omugenzi nga abadde omwesimbu.

Okusiziira ku Kadaga omugenzi yaliko ssaabawandiisi wa minisitule y’ebyobulimi, minisita w’ebyobulamu, minisita w’ebyamateeka, minisita omubeezi ow’ebyobulimi n’obulunzi , minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’obwa pulezidenti ate nga yaliko era  omubaka wa Jinja south division

Ekiteeso kino kiwagiddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mathius Mpuuga alaalise palamenti nga bwakoze kino ekyokudda okulaga obuntu bulamu, ono alaze nga Kyemba we yali mulwanirizi wa ddembe lyo’buntu ate eyakola okulaba nga ngemirembe gibukala mu ggwanga.

Amyuka omukulembeze we ggwanga Jesica Alupo ategeezezza nga ěggwanga werifiiriddwa omuntu omwesimbu.
Ababaka okuva mu bbedobendo lya Busoga boogedde ku mugenzi nga eyali munna byabufuzi owamanyi era eyakolerera okulaba nga nga ekitundu kikula.

 Omubiri gw’o mugenzi gwaleteddwa ku palamenti ku sawa taano ezo kumakya aba kapuni ya Uganda Funeral Service nga bayambibwako bandi ya Poliisi era negukwasibwa omumyuka wa sipika wa palamenti Thomas Tayebwa nga ono abadde awerekeddwako omumyuka wa katikiro wa Uganda owo kusatu Rukia Nakadama, ababaka ba palamenti okuva mubendobendo lye busoga ,kalani wa palamenti Adolf Mwesige nabakungu abalala .

Omugenzi wakuziikwa sabiiti eno olunnaku olwokunna ku bijja byaba jaaja be e Bugembe mu district ye Jinja.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *