Palamenti eyisizza omusolo ku mafuta, Sseminti n’amazzi ag’okunywa.
Palamenti emaze nekakasa omusolo ku mafuta g’ebidduka, amazzi ag’okunywa, seminti n’ebirala wakati mu kukola enongosereza mu teeka lya ‘Excise Duty’
Eteeka lino lyalina okukakasibwa nga May 6, 2024 wabula oluvanyuma lw’obutakaanya sipiika Anita Among yasalawo liyimiyirizibwe okwongera okulyekeneenya
Etteka lino oluvanyuma lw’okukomezebwawo mu palamenti era nga lyayanjuddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi kyadaaki bakaanyiza nti amafuta ga Petrol ne Diesel gongerweko omusolo gwa nnusu 100, amazzi g’okunnywa agatundibwa ennusu 50 ku buli liita, sseminti ne layimu ennusu 500 buli kkiro wabula nga waliwo ne gyebasimbidde ekkuuli okuli
Ogwa” mmobayiro mmane” n’enkola eya “agent banking” ogw’ebitundu 0.5 ku buli 100 nebaguzza ku nkola za digital” ezikozesebwa okuggyayo ssente ezibadde zitaggyibwako musolo nga omuntu wakusalibwangako okusinziira ku muwendo gwanaba aggyeyo
Ababaka bawabudde gavumenti okunoonya amakubo amalala mweyinza okuggya omusolo okusinga okulinyisa omusolo buli mwaka gw’ebyembalirira by’ensimbi.
Bano baategeezezza nti mu mwaka gwe by’embalirira gw’ebyensimbi 2021/2022 palamenti era yayisa omusolo ku mafuta gwa nnusu 100 nga kitegeeza ekikumi ekyongezeddwako kigenda kugulinyisa okuva ku nnusu 1450 ku Petrol gudde ku 1550, ate ku Disiel gwakuva ku nnusu 1130 gudde ku 1430.
Omusolo ogubaddewo bagamba nti gubadde gunyigiriza bannayuganda era nga nabamu bizinensi bazigalawo dda nga kyebakoze ekyokugattako 100 ebidduka nabyo yagambye bigenda kulinyisa ebyentambula ekiyinza okukosa eggwanga mu by’enfuna.
Ye omubaka wa Kira Munisipaali Ibrahim Ssemujju Nganda, yasoose kusaba palamenti nti bwekiba kisobooka eteeka bandisoose nebalizaayo mu kakiiko okufuna omukisa omulala ogwekeneeya ebbago lino naddala ku mafuta g’ebidduka, ebizimbisibwa n’amazzi g’okunywa ekitawagiddwa okukakkana nga ennongosereza zikoleddwa.
Wano ababaka okubadde Muhhamad Nsereko owe Kampala,Allan mayanja owe Nakaseke , Betty Ethel Naluyima n’abalala bategeezezza nti tebawakanya musolo kubanga buvunaanyizibwa bwabwe okuyamba ku gavumenti mu byenyingiza naye bannayuganda basaanye basaanye balabe ssente ezibagyibwako weziteekebwa.
Bya Namagembe Joweria