Politics

Palamenti kyadaki eyingidde munsonga z’okukwatibwa kw’abantu abasoba mukumi nga bano banganda za famile y’eyaliko minisita ow’aguno naguli AL HAJJI Abdul Naduli

Palamenti kyadaki eyingidde munsonga z’okukwatibwa kw’abantu abasoba mukumi nga bano banganda za famile yeyaliko minister owagunonaguli AL HAJJI Abdul Naduli, sipiikawa Palamenti bwalagidde minister omubezi ow’ensonga z’omunda David Muhoozi  okuleeta bunambiro amannya g’abobonna abakwatidwa n’ebifo webali ku saawa eno.

Kuntandikwa yasabbiiti eno amawulire gafuluma nga kigambibwa nti ekitongole ky’ebyokwerinda nga kikozesa emotoka za drone kyazingako amaka ga famile ya Naduli eyali omusaale mu lutalo olw’aleeta gavumenti mubuyinza n’ebakwata abantu be kumi nga kiteberezebwa nti bebenyigira muttemu ery’eyoleka ku poliisi e busiika omwafiira abasirikale babiri.

Kino Kizze oluvanyuma lw’omubaka we Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunya okuleeta okwemulugunya kwe eri palamenti kukiwamba bantu ekisusse mugwanga nga agamba guno gufuuse muze gw’ebitongole by’okwerinda okuwambanga banauganda entakera nga ne kusaawa eno ekisinga okwenyamiza tebamanyi namayitire g’abantu ba famile ya Naduli.

Mungeri y’emu  n’omubaka wa katikamu north Denis Ssekabira agamba guno gwandibanga mupango gwakukwatilamu banabyabufuzi ababala.

Kino kiwalirizza sipiika wa Palamenti Anita Annet Among okulagira minister omubeezi ow’ensonga z’omunda okuleeta bunambiro amannya g’abo bonna abali mu budukulu obw’enajawulo.

Yye ssabaminista w’egwanga Robbinah Nabanjja asubizza okukola okunonyereza ku nsonga eno paka nga bano bayimbuddwa.

Ye minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda David Muhoozi asubizza okudda olw’okubiri lwa sabiiti egya nga bwekimusabiddwa sipiika wa Palamenti okuwa alipota enambulukufu ku bantu bano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *