Local

POLIISI ETANDISE OKUNOONYA MUSAJJA WAAYO ASSE OMUYINDI

12th May 2023.

Poliisi erikumuyiggo ogwamussajja waayo Wabwire Ivan agambibwa okutta omuyindi okuva mu kampuni ewola ssente eya TFS Financial Services esangibwa kukizimbe Kya Rajab Chambers kuluguudo lwa palamentary avenue mutuntu lya leero.

Omuyindi atiddwa ategerekese nga Uttama bhandari ngono abadde akola mulimu gwakuwola nsimbi muyite (money Lender) era nga kigambibwa nti ekimusizza kivudde kubutakanya obubaluseewo wakatiwe nomusirikale amusse ngentabwe eva kumagoba gabadde awakanya agabadde gaweza obukadde bubiri mu emitwalo kumi nesatu.

Okusinziira kumwogezzi wa poliisi mu kampala nemilirwano Patrick Onyango akakasiza okuttibwa kw’omuyindi ono era nagamba nga bwebatandise omuyiggo gw’omussajja waabwe Ivan Wabwire nga nokunonyereza bwekugenda mumaaso.

Onyango avumiridde ekikolwa ekikoleddwa omusirikale ono nokukomya okwewola mubitongole byobwananyini nabakubiriza okwettanira ekitongole Kya poliisi ekibawola ekya Exodus okwewala emivuyo ngagino.

Mubelabiddeko nagaabwe nga ensasage eno yakamala okubaawo, bagamba nti nabo bawulidde masasi kuvuga kwekuduka balabe ogubadde wabula bagenze okusanga nga omuyindi atiddwa nga waliwo omussajja abadde ayambadde ebyambalo bya poliisi alabikanga abadde akikozze eyakozeseza bodaboda nadduka NGA poliisi tenatuuka.

Bino webijidde nga mumwezi guno gwenyini ne minister omubeezi owensonga z’abakozi Charles Engola yakatibwa omukumiwe saako ne blogger Ibrahim Tusubila abadde amayiddwa enyo nga Jjajja Ichuri eyatibwa abazigu abatanategerekeka e’kyanja era kino kyaleka ebibuuzo binji eri banansi.

Oluvanyuma omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa emotoka ya polise ekola kubyokuziika mu gwanika e mulago.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *