Politics

Poliisi yezoobye n’ababaka ba palamenti abakyala ababadde balaga obutali bumativu.

Polisi ya Palamenti yasanze akaseera akazibu okulemesa ababaka ba palamenti abakyaala abali kuludda oluwabula gavumenti ababadde batwaala ekiwandiiko kyabwe ku ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga okulaga obutali bumativu bwabwe kungeri abakuuma ddembe gyebabayisaamu mu bitundu gyebakiikilira bwebagezaako okuba enkungaana zabakyala era okukakana nga babakubyeemu omuka ogubalagala.

Ababaka abakyala bano okuva Ku ludda oluwabula govunmenti ababadde abakaawu okukira enumba nga banekanekanye mu byambalo ebiddugavu bafulumye palamenti ne bipande okubadde obubaka obuvumirira ebikolwa ebyokutyoboola eddembe lyabwe ,nga babadde boolekera ekitebe Kya minisitule eyensonga zo munda mu ggwanga wabula abeby’okwerinda tebabaganyizza oera olufulumye palament nebabambalira .

Ababaka bano babadde bakulembedwamu minister owebyamawulire ku ludda oluwabula gavumenti Joyce Baagala Ntwatwa, bagamba ensonga lwaki basazeewo okutwaala ekiwandiiko ku ministry y’ensonga zomunda, Poliisi ya Uganda eyitiriza okubatulugunya bwebaba bakuba ekungaana zabakyala mubitundu gyebakikilira kyokka nga bo abali mu kibiina ekiri mubuyinza bazikuba kyeere.

Ye omubaka omukyala owa district ye wakiso Betty Ethel Naluyima agamba poliisi okubagaana okutuusa okwemulugunya kwaabwe eri ministry yensonga zomunda kibalazze lwatu nti byebakola babikola kagenderere.

Bo ababaka abalala okubadde omubaka wa Hoima city Nyakato Asinansi, omubaka omukyala owa mukono Hanifah Nabukeera, omubaka omukyala owa Kalangala district Hellen Nakimuli, Omubaka omukyala owa Soroti City Joan Achom balaze obutali bumativu wakati mu kuwera nti kumulundi guno sibakusa mukono okutuusanga edobozi lyabwe lituuse

Wabula bano wakati mukusikangana ne Poliisi bangi bakoseddwa nebisago,kwossa okutuuka wansi era poliisi yekozeemu omulimu netandika okubasitula nga bwebayingiza drone yaayo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *