Sipiika wa parliament Annite Among alabudde ababaka abebulankanya.
Omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu , Rt Hon Annite Annet Among ayongedde okukangula kuddoboozi eri ababaka ba palamenti abagufudde omuzze okwebulankanyanga muntuula za palament wamu nobukiiko bwa palamenti obwenjawulo era nalabula nti Palamenti yakukozesa omukono ogwamaanyi ,okukangavvula abo bonnna abazanyira munsimbi yomuwi womusolo.
Gyebuvuddeko era omunyuka wa sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa yalabula ababaka ba Palamenti abebulankanya muntuula zapalamenti Ssaako nebaminisita ng’era wano yalabula nti bandigibwamu obwesigwa mubifo byabwe olwo nebawa ekyanya eri abantu abasobola okuteesezza eggwanga lyabwe.
Sipiika Among bwabadde aggulawo olutuula lwa Palamenti olwo lunaku olwaleero ategezezza nti omuze guno gukulidde ddala ng’era akizudde nti kubabaka ba Palamenti abasoba mu 500 omwezi guno abetabye muntuula za Palamenti wamu nobukiiko babadde batono ddala.
Among era asabye ababaka ba Palamenti okwewandiisa ngabatuuse mu Palamenti wamu naabo abatuula kubukiiko bwa Palamenti obwenjawulo olwo kiyambeko okumanya bebagenda okukangavvula.
Omubaka wa Nakaseke central Allan Mayanja ssebunya , asabye sipiika okwogera okulungamya ababaka ba Palamenti abalina obukiiko obusukka mukamu engeri gyebayinza okukiika kunjuyi zombi okulabanga trbamenya mateeka.
Nampala wa gavumenti Hamson Denis Obua akiriziganyiza ne sipiika kukyokubonereza ababaka bonna abebulankanya muntuula za Palamenti ngamateeka bwegalambika ngagamba nti omuze guno guleetera emirimu gya Palamenti okutambula akasoobo.