Food & Health

SPEAKER ALANGIRIDDE ETTEEKA KU BULWADDE BW’EMITWE

22/05/2023

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Annet Anitah Among ategeezeza nga bw’agenda okulwaana okulabanga palamenti esaawo emiziziko eginaayitibwamu okulwanyisa embeera eziviiraako abantu okutabuka emitwe ekyogeddwako nti eno yeemu ku ndwadde eviirideko bannnsi ba Uganda bangi okwekyaawa nebatuuka n’okutta banaabwe.

Nga asinziira mu kutongoza ssabiiti ey’okwefumitiriza ku ngeri y’okulwanyisamu endwadde y’emitwe etandise olwalweero okutukanga 28 omwezi guno ku nteekateeka eyindira ku palamenti, Speaker Among wamu n’ababaka ba palamenti, nebannakyewa abakola ku nsonga z’embeera y’obwongo balaze okutya nga omuwendo gwabantu abatabuse emitwe bwegweyongedde mu ggwanga nga n’emisango egyekuusa ku butemu egyikyase ensangi zino kigambibwa nti abajenyigiramu abasinga baba baliko obukosefu ku bwongo nga ke kaseera okukinogera eddagala.

Speaker Among agamba nti Palamenti yakubeera nsaale mu ku gunjaawo amakubo aganaayitwamu okulabanga ekizibu kino kikendeera okuyita mu kusaawo etteeka era nga ababaka ba palament beebamu ku bagenda okubeera ku mwanjo mu keberebwa obwongo babe ekyokulabilako eri bannauganda abalala.

Akulira omukago gwa palamenti ogulwanyisa endwadde z’obwongo ogwa palamentary forum on mental health eranga ye mubaka w’ekibuga ky’eBusia Geofrey Macho saako n’omubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima bagamba nti ke kaseera gavumenti okulowooza okukeberanga bamukwata munddu bonna endwaade z’obwongo nga erimu ku kubo ely’okutangira embeera eyobulabe gyebatandise okutuusa ku banansi nga bekwasa nti baba balwadde era bagamba bakubeera basaale mu kugatta etafaali mukulwanyisa endwadde
eno mu ggwanga.

Dr Kenneth Kalan nga mukugu mu ndwadde z’emitwe okuva mu minisitule ye by’obulamu agambye obulwadde bwe mitwe bweyongedde ensangi zino olwembeera y’okusoomooza abantu mwebabeera nga ekyennaku abasinga bwebatabuka tebamanya nga y’ensonga lwaki tebagenda na mu malwaliro naasaba wassibwewo enkola yokusembereza abantu obuyambi ku nsonga eno.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *